Obujjanjabi obusookerwako ; By'olina okukola ng'emmeeme ekusinduukirira

28th March 2024

Ebintu bingi ebivaako okusesema oba okusinduukirirwa emmeeme

Obujjanjabi obusookerwako ; By'olina okukola ng'emmeeme ekusinduukirira
NewVision Reporter
@NewVision
#Ebyobulamu #Emboozi #Bujjanjabi #Obulamu #Emmeeme #Byabulamu

EMMEEME okukusinduukirira, obeera owulira nga ayagala okusesema. Embeera eno emalako omuntu emirembe, era obeera weetaaga okwejjanjaba nga bukyali, okusesema kuleme kugoberera.

Ebintu bingi ebivaako okusesema oba okusinduukirirwa emmeeme, omuli okulya emmere erimu obucaafu, obulwadde naddala omusujja, abakyala abaakafuna embuto, ggaasi okukubeera mu lubuto, olusu olutali lulungi eri abantu abamu, okunywa ennyo omwenge, eddagala n’ebirala.

Omukutu gwa https://my.clevelandclinic.org gugamba nti okusesema tekulina nnyo buzibu, naye kayinza okuba akabonero k’obulwadde obw’amaanyi. 

-Singa emmeeme ekusinduukirira, nywa ebyokunywa ebinnyogoga, naddala amazzi, kubanga gayamba okukkakkanya ku mbeera.

-Lya emmere etezitowa, okugeza omugaati, ebibala, amatooke, amenvu, n’ebirala. l Bw’oba olina amanda, osobola okugasekula n’oyiwamu amazzi n’onywako, kubanga gayamba okuggya obutwa n’obucaafu mu lubuto.

-Weewale okulya emmere ensiike ennyo oba ewoomerera.

-Bw’oba olya, topakuka. Lya mpolampola ng’ogaaya emmere n’egonda.

-Bw’omala okulya weewale okutambula ennyo oba okukola emirimu egirimu okukakaalukana. Wummula ekimala, ng’omubiri bwe gutereera.

-Singa okusesema kukulemerako, dduka mu ddwaaliro ofune obujjanjabi obusingako.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.