Bino biyamba okukuuma ensigo zo nga zikola bulungi

Dr. Julius Luyimbaazi, akulira eddwaaliro ly’e Lubaga, era omukugu mu kulongoosa ebitundu by’omubiri ebikwatagana n’ensigo n’okukola omusulo agamba nti, ensigo ze zirafuubana okusengejja ebintu ebitalina kubeera mu mubiri ne bifuluma, omubiri negusobola okusigaza ebirungo n’ebiriisa ebitaliimu kacica yenna.

Ebibala birungi ku kukuuma ensigo ennamu..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#okukuuma #ensigo #okukola #obulungi

Bya JACKSON SEWANYANA

ENSIGO ze zimu ku bitundu eby’omuwendo mu mubiri gw’omuntu ebikola obutaweera okuyimirizaawo obulamu bwe.

Dr. Julius Luyimbaazi, akulira eddwaaliro ly’e Lubaga, era omukugu mu kulongoosa ebitundu by’omubiri ebikwatagana n’ensigo n’okukola omusulo agamba nti, ensigo ze zirafuubana okusengejja ebintu ebitalina kubeera mu mubiri ne bifuluma, omubiri negusobola okusigaza ebirungo n’ebiriisa ebitaliimu kacica yenna.

Ensigo ziyambako ne mu kugereka obungi bw’amazzi agalina okubeera mu mubiri, mu ngeri nti zikakasa nti, tobeera na mazzi matono oba mangi ekisukkiridde. Zikola n’omulimu gwa ttendo muokulaba nga puleesa oba emisinde n’amaanyi agasaanidde omusaayi gwo kwe gulina okutambulira gamala.

Mu mbeera eya bulijjo, omuntu azaalibwa n’ensigo bbiri. Naye waliwo n’ababeera n’ensigo emu yokka nga kino oluusi kiva ku kubeera nga yazaalibwa n’ensigo emu, oba nga yazaalibwa nazo zombi, naye emu n’eyonooneka, oba nga yagigabira omuntu omulala eyali agyetaaga.

Dr. Ivan Magale, ow’oku ddwaaliro lya yunivasite y’e Makerere, agamba nti, okunoonyereza okuzze kukolebwa, tekirabikalabika okuzaalibwa n’ensigo emu. Era ku buli baana 100 abazaalibwa, oyinza okusangako omwana omu azaaliddwa n’ensigo emu. Ate n’ebivaako okuzaalibwa n’ensigo emu, bibuzaabuza ne ssaayansi tabinnyonnyola mu bujjuvu.

Wabula, obuzibu obutuuka ku butoffaali obuzimba ebitundu by’omuntu, by’ebimu ku bitonotono ebisongebwamu olunwe ebivaako omwana okuzaalibwa n’ensigo emu. Obuzibu buno, butera kubeerawo mu wiiki essatu ez’omwezi ogusooka omukyala gw’afuniddemu olubuto.

l Embeera ereetawo obuzibu buno ku butoffaali, evaako okusanguka kw’ebimu ku bitundu by’omwana we ebiri mu kutondebwa.

2. Yinfekisoni eri omukyala omuzito, ze zimu ku zivaako obutakula kw’ebimu ku bitundu by’omwana we.

3.Ettamiiro n’okufuuweeta sigala n’ebiragalalagala ebirala, nabyo bisobola okucankalanya obutoffaali obuzimba omwana era n’azaalibwa ng’ebitundu ebimu ng’ensigo eyookubiri tabirina.

                                   Dr. Magale

Dr. Magale

OW’ENSIGO EMU BY’OKOLA OKUBEERA OMULAMU OBULUNGI
Ensigo emu nayo esobozesa omuntu okubeera kumpi mu bulamu bwe bumu nga obw’omuntu alina ensigo ebbiri, era omuntu ayinza n’obutakimanya nti, yazaalibwa n’ensigo emu okuggyako ng’agenze mu bakugu ne bamukebera. Wabula okubeera n’obulamu nga obw’ow’ensigo ebbiri, ow’ensiso emu, ensigo yo erina okubeera nga nnamu bulungi ddala. Ate olina okubeera eri buli kintu ekisobola okugyonoona.

4. Weekebeze endwadde ezisobola okwonoona ensigo yo okugeza sukaali, puleesa, amasavu agayitiridde n’ebirala. Bw’oba ozirina osaanye okwejjanjabisa mu bwangu n’okugoberera amateeka g’omusawo.
Wabula, obuwuka naddala obulwaza yinfekisoni, nga siriimu, omusujja, obulwadde bw’okuddukana mu baana, lubyamira n’eddagala eritta obulumi nabyo bivaako omuntu okulwala ensigo.

ENKIZO ERI MU KUBEERA N’ENSIGO EBBIRI
Dr. Magale agamba nti, ekituzaaza n’ensigo ebbiri, kyekuusa ku butonde bw’omuntu, kuba ebitundu ebisinga ku muntu, Katonda yamutonda na bibiri bibiri, kubanga ekimu bwe kyonooneka osigaza ekirala.

Ensigo emu bw’ekola ekisukkiridde n’ekoowa, obeera mu matigga kuba egenda kufuna obuzibu n’okwonooneka amangu.

Era singa ensigo emu efuna obuzibu obeera olina okufuna omuntu akuwa ensigo.

GWE BATADDEMU ENSIGO YA MUNTU MUNNO OWANGAALA EMYAKA 10 OKUSINGA KU GWE BATADDEKO ENSIGO EY’EKYUMA
Okwonooneka kw’ensigo kwawulwamu emitendera 5. Ku mitendera egisooka 4, babeera basobola okukujjanjaba n’ofunawo enjawulo, ekitali ku mutendera ogusembayo 5.

Ab’ensigo emu, banguwa okutuuka ku mutendera ogusemberayo ensigo kw’eremerererwa ddala nga tekyasobola kukola bulungi.
Obulwadde bw’ensigo zo, bwe bubeera ku mutendera ogusembayo, ggwe obeera weetaaga nsigo okuva mu muntu omulala

oba abasawo okukuteeka ku kyuma ekikunuunamu obutwa buli kiseera ekigere ekiyitibwa ‘Dialysis Machine’.

Amazzi Gayamba Okugogola Ensigo.

Amazzi Gayamba Okugogola Ensigo.

OKUSOOMOOZA OKULI MU KUKUSSAAKO ENSIGO ENDALA
Dr Magale annyonnyola nti, okukussaamu ensigo endala okuva mu muntu munno, tekijja na birungi byokka, wabula kirina n’okusoomooza kwe kireeta mu bulamu bw’omuntu.

1.Bamala akaseera nga gwe bataddemu ensigo bamuwa eddagala erikendeeza ku maanyi g’abaserikare abalwanyisa endwadde, yinfekisoni oba ekintu ekirala kyonna ekitasaanidde kubeera mu mubiri gw’omuntu kuba abaserikale bo babeera balaba ensigo gye bakutaddemu nga omulabe era nga bagirwanyisa bagitte.

2. Okukendeeza ku maanyi g’abaserikale b’omubiri gwo, kikussa mu matigga g’okulumbibwa endwadde okuli ez’emitima, omugejjo, ssennyiga, kookolo, akafuba ne yinfekisoni ezitali zimu nga eziyita mu musulo.

OBUBONERO OBWOLEKA ENSIGO ENDWADDE

l Dr. Luyimbaazi annyonnyola nti, enkyukakyuka ya puleesa y’omuntu esobola okukubagulizaako nti, ensigo ze ziriko ekikyamu. Terina kulinnya kusukka 120, ate terina kukka kugenda wansi wa 80.

2. Obucaafu, n’amazzi nabyo bwe biyitirira mu mubiri, obuzibu bubeera buva ku nsigo. Mu kkowe ly’erimu, n’omusaayi bwe 

gukendeera mu mubiri, nako kabeera kabonero akooleka
ekikyamu ku nsigo zo.

3.Osobola okujjirwa embeera gy’otategeera, okuli okunafuwa omubiri, okulumwa nnakanyama, okulumwa ebinywa, okufuna kammunguluze.

4. Okulumwa omutwe, okuggweebwako obwagazi bw’okulya oba okwesanga ng’omusulo gw’ofuuyisa mutono ekiyitiridde ku gw’olina okufuuyisa oba n’ofuuyisa omusulo nga gulimu olusaayisaayi oba ekyovu ekingi ekyoleka nti, gujjiddemu ekiriisa ekizimba omubiri.

5. Olumu okeera ku makya nga mu maaso n’amagulu ozimbye.