Omwami wange mwenzi nnyo, ssenga nkole ntya?

Ssenga omwami wange mwenzi nnyo! Abantu bangi boogedde naye bigaanyi era kati akola gwa kusomba baana. Kati omwaka guno, yaleeta abaana basatu ate omwaka oguwedde yaleeta babiri. Nze nnina abaana babiri era yangamba nti ngenda kukola gwa kulera baana kuba nze nakoma ku baana babiri nga nnina ekizibu mu nnabaana.Ssenga sirina ssanyu mu bufumbo buno era ntya okufuna obulwadde. Mmuviire?

Omwami wange mwenzi nnyo, ssenga nkole ntya?
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#omusajja #mwenzi #nkole ntya?

Ssenga omwami wange mwenzi nnyo! Abantu bangi boogedde naye bigaanyi era kati akola gwa kusomba baana. Kati omwaka guno, yaleeta abaana basatu ate omwaka oguwedde yaleeta babiri. Nze nnina abaana babiri era yangamba nti ngenda kukola gwa kulera baana kuba nze nakoma ku baana babiri nga nnina ekizibu mu nnabaana. Ssenga sirina ssanyu mu bufumbo buno era ntya okufuna obulwadde. Mmuviire?

Mwana wange ng’olabye n’omusajja omwenzi naddala mu mbeera eriwo eya siriimu ate
n’akukudaalira nti ogenda kukola gwa kulera baana, kubanga tosobola kuddamu kuzaala. Kati mwana wange okusookera ddala, okusalawo kukwo. Olina okwebuuza
oba ddala okubeera mu bufumbo obwo kikuyamba era oba olina emirembe. Kubanga omusajja omwenzi aba akulaga nti takwagala.

Waliwo akikola omulundi nga gumu oba ebiri naye ono akukasa nti ddala mwenzi nga
n’abaana abaleeta. Kati mwana wange abakyala bangi bafumbo naye nga tebalina mirembe. Abasinga bakuumirawo baana nga tebaagala kuleka baana nga bato kuba bamanyi abaana basobola obutafuna mukwano gwa maama.

Mu kunyigirizibwa okwo, babeerawo abaana ne bakula. Abalala basalawo ne banoba n’atandika obulamu obupya n’abaana. Abalala banoba ne balekawo abaana.

Bino byonna mwana wange osobola okubikola naye ekibuuzo kiri nti olowooza omusajja ono akwagala? Ekirala, obulamu bwo obulowoozaako? Kubanga oyinza
okugamba nti ogenda kusigala mu bufumbo naye ate bw’ofuna siriimu. Oba tolina ssanyu mu bufumbo nga bw’ogamba kiki ekinaakuwa essanyu? N’okufuna
essanyu ggwe kennyini olina okwefaako.

Newankubadde abantu bangi balowooza nti abalala be balina okubawa essanyu kino
si bwe kiri. Olwo obulamu bwo oba obuwadde oyo nga y’alina okubutambuza. Kale mwana wange weebeereremu. Nkubira essimu (0772458823) twogere ku
nsonga eno.