EKIMU ku bintu byosobola okukola omwaka okukyusa endabika y’awaka si nsonga oba wazimba oba okyapangisa kwe kugula kateni ez’omulembe.
Abantu bangi bazimba amayumba ag’omulembe n’ebikozesebwa ebirabika obulungi, kyokka ne beerabira kateni ate nga ze zaaniriza abagenyi.
Ng’oggyeko abagenyi nammwe ababeera awaka wagenda kwongera okubasanyusa. Harriet Nanfuka, kafulu w’okutunga n’okutunda kateni mu Kiyembe agamba nti tewakyali nsonga omuntu okubeera ne kateni y’ebituli oba eyaguba mu nnyumba nga tuli mu 2025.
Kateni ez’omulembe kye kintu ekirina okusemba ku nnyumba ng’omaze okukuba pulasita oba n’okusiiga langi. Ennungi zitundibwa mu mmita era nga zaawukana okusinziira ku mutindo ng’ezimu ziva ku 20,000/- n’endala zigendera ddala ku mitwalo 10 buli mmita.
Ekimu ku by’olina okugenderera ye langi kuba esaana ebeere ng’ekwatagana n’ebintu ebiri mu nnyumba ng’entebe ne langi eyasiigibwa ku bisenge. Langi zirina okuba nga zirina akakwate okusobola okuggyayo ekifaananyi ekirungi.
Faayo okumanya obuwanvu bwa kateni ze weetaaga. Kateni zirimu ebipimo ebyenjawulo kuba ezimu zibeera za yinci 63, 84, 95, 108 ne 120 okusinziira ku buwanvu bw’enzigi n’okuva wansi okutuuka ku siiringi.
Olina okupima okuva w’oteeka omuti omutambulirwa kateni okutuuka wansi ku ttaka, kyokka wansi kyandibadde kirungi n’ebeera nga tekoonera ddala ku ttaka.
Obugazi bw’oluggi oba eddirisa nabwo busalawo kinene kuba obugazi bwa kateni bwandibadde tebusussa yinci 45.
W’ogenda okugiteeka bwe waba nga wagazi okusukkawo kiba kitegeeza nti olina okugula ezisukka mu emu. Bwotuuka okuziggula buli emu n’ogisindika ng’ogizza erudda.
Kateni erina okuba ng’obugazi eyita ku ddirisa oba oluggi kireme kubeera ng’omuntu bwabeera ebweru asobola okulingiza ekiri munda. Kateni nga tonnazissa mu nnyumba olina okusooka okukubamu ebituli mu kisenge omugenda curtain rods ezikwata kateni.
Kisaana okufuna omuntu alina drill machine n’otamala gasima binnya mu kisenge nga weeyambisa ebintu ng’emisumaali.
Kateni zonna ez’omulembe zirina okubeerako akatimba kuba mu biseera by’emisana bwosika kateni, olina okulekamu akatimba akayamba ekitangaala okuyingira n’okulabisa ennyumba obulungi.
Kateni z’omu kisenge ky’abaana zisaana zibeere nga zanjawulo. Kikola bulungi nga zirimu ebifaananyi ebisanyusa abaana okulaba lwe batakoowa kisenge era zandibadde mu langi ezitaguba mangu.
Sulaiman Katamba omutunzi wa kateni ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa agamba waliwo kateni gyogula naye ng’evaamu langi bwogyoza era mu njoza bbiri ebeera ekyukidde ddala mu ntunula.
Waliwo n’ezimu ezisowottoka ng’ekintu kigikuttemu era tesobola kuwangaala. Bw'oba oyagala kateni eyingiza amangu ekitangaala lowooza nnyo ku za cotton ne bwe zibeera mu langi za njawulo. Bw'oba oyagala ekitangaala eky’ekigero, bwogula eza linen obeera okimaze.
Kyokka bw'oba oyagala ekitangaala kibeere nga tekiyingirira dda, eza Velvet zikikola bulungi.
Okugula obuguzi kateni tekimala naye olina n’okugulirako ebigenderako nga ebyuma ebizikwata ku kisenge ne waggulu eby’omulembe. Kateni gy'ekoma okuba n’amavuunya gyekoma okunyuma.