Omuzadde by’olina okufaako ng’ozimba ebisenge bya baana

15th June 2023

Ennaku zino abazadde bangi eby’okwerabirira baabivaako dda ne basalawo okwerumya okulaba ng’abaana baabwe babeera bulungi. 

Omuzadde by’olina okufaako ng’ozimba ebisenge bya baana
NewVision Reporter
@NewVision
#Emboozi #Akeezimbira #Bisenge #Baana

Ekiwa abazadde abasinga essanyu kulaba baana baabwe nga bali mu mbeera eyeeyagaza. Ky’ova olaba nga bangi beerekereza n’oluusi okusula enjala okulaba ng’abaana baabwe babeera mu mbeera eyeeyagaza.

Abaana ba bazadde abaakola entegeka ne bazimba amayumba agali ku mulembe babeera mu kweyagala olw’okusula obulungi n’okufuna ebyetaagisa kyokka abali mu mbeera y’okweyiiya n’okusula mu mizigo basula batakula emitwe n’okulaba engeri gye bamalako nga bafuna essanyu ng’abazadde ate ne batakosa bwongo bwa baana.

 Ekisenge ky'omwana ekiyooyoote nga kino kimusikiriza okubeeramu.

Ekisenge ky'omwana ekiyooyoote nga kino kimusikiriza okubeeramu.

Ennaku zino abazadde bangi eby’okwerabirira baabivaako dda ne basalawo okwerumya okulaba ng’abaana baabwe babeera bulungi. 

Ggwe omuzadde atambula n’omulembe era ng’oyagala omwana wo okusula mu mbeera eyeeyagaza olina ebintu by’olina okutunuulira ng’ozimba ennyumba yo okugeza: Ffaayo ku bugazi bw’ekisenge, emyaka gy’abaana, ebitanda kwe basula, enteekateeka y’ekisenge n’enfuna yo. Ssebo oba nnyabo togwa ku mabanja olw’okuba oyagala okusanyusa abaana. Kola ekyo ekijja mu nfuna yo.

Joselyne Nakangu, omukugu mu nsonga za baana agamba nti omwana ku myaka ebiri abeera atandise okutegeera. Kati okwewala okukosa obwongo bwe ng’alaba bye mukola, wandibadde omuggya mu kisenge kyammwe.

 Bw'oba okola ddeeka leka zireme kusukka bbiri.

Bw'oba okola ddeeka leka zireme kusukka bbiri.

Engeri gy’oyinza okutegekamu ekisenge kya baana

Ne bw’oba olina ennyumba nfunda, fuba okulaba ng’ekisenge abaana mwe basula nga kyetadde bulungi okwewala endwadde, alaje n’okuziyira nga biva ku mugotteko. 

Amadirisa n’enzigi birina okuggulibwa buli ku makya empewo ennungi eyingire n’embi efulume. Ekisenge bw’okikuuma nga kisibe kijja kucuuma abaana balwale. 

Ebitanda birina okuba nga bikoleddwa bulungi bireme kukalabula baana oba okubatuusaako ebisago nga babirinnya naddala ebya ddeeka.  Tokkiriza baana kubizannyirako kubanga bayinza okuvaayo ne bagwa ne bafuna ebisago. Abakulu basule waggulu ku ddeeka abato basule wansi.

 Bw’oba osiiga Langi, funa okukozesa Langi ezisikiriza omuli: enjeru, pinki ne kacungwa. Oyinza n’okubateeramu ebifaananyi ebibawummuza ebirowoozo oba ebibasomesa kyokka toteekamu ebitiisa ebiyinza ebiyinza okubalemesa okwebaka n’okubaleetera okuggugumuka ekiro.  

Bw’oteebaka mu katimba, ensiri zijja kukuluma olwale omusujja n’oluusi okufa bw’oba tuyanguye kufuna bujjanjabi. Era ng’omuzadde, kikukakattako okubakeberako ekiro okulaba oba beebisse bulungi nga n’obutimba baabutaddeko. 

Ggwe omuzadde alina omwana afuka ku buliri omufaliso olina okuguteekako ekipiira. Ate bwe baba bagenda okwebaka wandibadde obakubiriza okusooka okwetaawuluza oba okubawerekerako ekiro ayagala okufuuyisa n’azuukuka. Bw’oleka abaana okufuuyisa mu kisenge kijja kucuuma kibamaleko emirembe n’okuwunyisa ennyumba yonna.

 Langi ezireekaana nga zino zisikiriza abaana abato.

Langi ezireekaana nga zino zisikiriza abaana abato.

Ennyumba yo ne bw’eba nfunda etya, ebitanda byandibadde tebisukka ddeeka bbiri abaana obutagwa.  Bw’oba okikoze olw’obufunda, bateereko amadaala. 

Mpozzi n’abaana abawala baawule ku balenzi naddala nga basukka mu myaka 10. Bonna bwe baba basula mu kisenge kimu wandibadde oteekawo kateni ebaawula ate buli kiro olina okubakeberako obutagwa mu bikemo. 

Weewale okuteeka ekinaabiro ne kaabuyonjo mu kisenge kya baana kubanga bayinza okulemererwa okubiyonja ate n’ebintu ebikozesebwa okuzirongoosa biyinza okuba eby’obulabe gye bali ne bibalwaza. 

 

 

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.