Victoria University ne Kampala University bubeefuka ku fayinolo y'okubaka e Ndejje

21st December 2022

“Twagala kulwanirira kitiibwa kya bazannyi bannaffe abaawangula ekya 2018 nga tetunneegatta ku yunivasite eno, baawangula ekikopo kati tetwagala kubaswaza, tugenda kulwana tufiirewo.”

Omuzannyi ng'agezaako okuteeba.
NewVision Reporter
@NewVision
#Eastern Africa University Games #Kampala University #Ndejje #Victoria University #She Cranes
29 views

Eastern Africa University Games (mu ‘quarter’ z’okubaka);

KU 30-12 Kyambogo

Ndejje 43-5 University of Dodoma

Victoria 41-33 Nkumba

UCU 53-20 Mountain of the moon

Ku semi

KU 40-37 Ndejje

Victoria University 49-41 UCU

Fayinolo

Kampala University - Victoria University

LEERO ku Lwokusatu ye fayinolo y’okubaka mu mizannyo gya yunivasite z’obuvanjuba bwa Afrika egimaze ennaku ttaano nga giyindira ku yunivasite y’e Ndejje mu Luwero.

Kampala University abalina ekikopo ky’okubaka mu bakazi n’abasajja bye baawangulira ku yunivasite of Dodoma eya Tanzania mu sizoni ya 2018, beewera kulaga Victoria University nti kyampiyoni tebamweyimbamu.

mutesi Nasiimu owa Victoria (ku ddyo) ng'azibira owa UCU.

mutesi Nasiimu owa Victoria (ku ddyo) ng'azibira owa UCU.

Bano beesigamye ku mmundu emmenye zaabwe okuli; Margaret Baagala ne Sarah Nakiyunga aba NIC mu liigi y’eggwanga ey’okubaka, kapiteeni Shakira Nassaka ne Faridah Kadondi aba Makindye Weeyonje, Mercy Batamuliza (KCCA) n’abalala bangi.

“Twagala kulwanirira kitiibwa kya bazannyi bannaffe abaawangula ekya 2018 nga tetunneegatta ku yunivasite eno, baawangula ekikopo kati tetwagala kubaswaza, tugenda kulwana tufiirewo,” Nassaka bwe yaweze.

Wabula wadde bawera nkolokooto, Victoria University nayo tewena ku mulundi gwayo ogusoose okukiika mu muzannyo gino yeesigamye nnyo ku bassita ba She Cranes abagiwaniridde okutuuka ku fayinolo.

Namulumba mu bbanga ng'alwana okuteeba.

Namulumba mu bbanga ng'alwana okuteeba.

Bano kwe kuli abateebi ababiri; Shadia Nassanga ne Christine Namulumba, kapiteeni waabwe Nassim Mutesi, kw’ossa namuziga yaabwe wakati Firidausi Namuleme atali ku She Cranes.

“Kampala University tetubatya wadde balina erinnya mu muzannyo guno. Naffe twazze tuwanze ggiya y’ensonga lwaki tukolera wamu nga kitole era twagala kikopo mu sizoni yaffe esoose,” Mutesi bwe yaweze.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.