Eastern Africa University Games
Ndejje University – Luwero
Omupiira (Abasajja) Kampala University 4-0 Kenya Methodist
Ndejje 5-0 Mountain of the Moon
MUBS 0-1 UCU
BSU 0-4 University of Dodoma
UCU 0-2 Makerere
UMU Nkozi 0-0 YMCA
IUIU 3-1 Kyambogo
Abakazi
UCU 7-0 BSU
Kyambogo 2-2 University of Eldoret
Busitema 0-7 Kampala University
Ggoolo ya Jeromy Kizito (UCU) mu ekitundu ky’omuzannyo ekyokubiri ye yakutudde MUBS mu gy’ekibinja A mwe bali ne; Makerere, Kampala International University, Bugema ne Kibabi University.
Sizoni ewedde (2018) mu mizannyo egyali ku University of Dodoma eya Tanzania, MUBS baakuba Bishop Stuat (2-1) ku fayinolo, omulundi guno nga tebalina mutendesi waabwe Charles Ayiekho eyasuulawo ttiimu gye buvuddeko, essuubi ly’okukyeddiza liri mu lusuubo.
Adam Kato maneja wa MUBS agamba nti ekigwo ekimu tekigaana muto kutambula era bagenda kusigala nga balwana okulaba nga bakung’aanya obubonero ku ttiimu endala ezisigadde mu kibinja okutangaaza emikisa gy’okusigaza ekikopo kyabwe.
MUBS baakawangula eky’omupiira emirundi esatu; 2006 egyali e Kyambogo, 2014 ku UCU Mukono ne 2018.
Emizannyo gino gye gy’omulundi ogwe 12 nga gyagiddwaako akawuuwo eggulo Lwamukaaga ku yunivasite y’e Ndejje mu disitulikiti y’e Luweero. Emizannyo 20 Ggye givuganyizibwako okuli;
Emisinde, Badminton, Basketball, Chess, Darts, Omupiira, Handball, Hockey, Karate, Okubaka, Rugby, Scrable, Okuwuga, Tabla Tennis, Taekwondo, Tennis, Volleyball, Woodball, Goalball ne Beach Handball.
Mu ngeri y’emu abakazi ba UCU Mukono baatandise n’obusungu bungi nga babonereza Bishop Stuart University 7-0, nabo batunuulidde kikopo kya mupiira sizoni eno.
Comments
No Comment