Uganda ewanduse mu z’ensi yonna

TTIIMU y’eggwanga ey'abawala abatasussa myaka 17, Teen Cranes ewanduse mu mpaka z'okusunsula abalizannya World Cup omwaka guno. Yakubiddwa Kenya 3-0 nga mu gwasooka, baakubwa e Kampala, ggoolo 2-0

Uganda ewanduse mu z’ensi yonna
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abalizannya U17 World Cup
Kenya 3-0 Uganda
TTIIMU y’eggwanga ey'abawala abatasussa myaka 17, Teen Cranes ewanduse mu mpaka z'okusunsula abalizannya World Cup omwaka guno. Yakubiddwa Kenya 3-0 nga mu gwasooka, baakubwa e Kampala, ggoolo 2-0.
Uganda yayingidde ensiike eno ng'eyagala buwanguzi bwa ggoolo 3-0 okugenda ku
luzannya oluddako wabula Kenya yabakedde ggoolo ng'eyita mu Patience Asiko mu
ddakiika eyookutaano.
Eno yagattiddwaako endala bbiri eza Brenda Achienge mu ddakiika y’e
85 n’e 94.
Kenya yayiseewo ku mugatte gwa ggoolo 5-0. World Cup yaakubeera Morocco nga October 17 - November 8.