Ttiimu za 'Super' ziddukidde mu masaza okufunayo abazannyi

Mu ngeri y’emu, omuwuwuttanyi wa Buweekula, Blancher Mulamba naye yeegasse ku Wakiso Giants ku ndagaano ya myaka esatu era ku wiikendi yazannye omupiira ogusooka nga Maroons ebawangula (3-0) ku kisaawe e Wakisha.

Sserunjogi eyeegasse ku KCCA.
NewVision Reporter
@NewVision
#URA FC #Wakiso Giants #KCCA #Buddu FC #Gomba FC #Ssingo FC

OMUTINDO omulungi mu bazannyi b’Amasaza ga Buganda sizoni eno gusikirizza ttiimu za ‘Super’ okuddukira mu ttiimu ezo ne zipasulayo abazannyi bazitaase mu liigi ya babinywera eyatandise gye buvuddeko.

Kenneth Kimera, omuteebi wa Gomba ye yeetisse olukalala lw’abazannyi kiraabu za ‘super’ be zirwanira. Ono ku Ssande yateebye emu ku ggoolo nga Gomba ewuttula Ssingo e Kabulassoke (3-1) mu nsiike eyasoose ku ‘quarter’.

Kigambibwa nti ku Mmande, Kimera yabadde ku ndeboolebo za kwegatta ku Wakiso Giants ku ndagaano ya myaka esatu. Kimera azannyiddeko Kibuli SS n’abayamba okuwangula ekikopo kya 2023 UMEA Solidarity Football Tournament, Manyangwa FC ne ttiimu endala.

Kisolo ng'asanyukira ggoolo.

Kisolo ng'asanyukira ggoolo.

Mu ngeri y’emu, omuwuwuttanyi wa Buweekula, Blancher Mulamba naye yeegasse ku Wakiso Giants ku ndagaano ya myaka esatu era ku wiikendi yazannye omupiira ogusooka nga Maroons ebawangula (3-0) ku kisaawe e Wakisha.

URA FC; John Innocent Kisolo omuteebi wa Mawokota yeegasse ku URA FC ku ndagaano ya myaka esatu ng’omusika wa Salim Abdallah eyayabulira ttiimu eno gye buvuddeko. Kisolo ajjukirwa olwa ggoolo gye yakuba Busiro mu gwaggulawo empaka z’Amasaza e Wankulukuku.

KCCA FC; Joel Sserunjogi 22, ye musaayimuto wa Buddu eyeegasse ku KCCA FC ku ndagaano ya myaka ena. Yazannyirako Busiro sizoni ewedde nga bawangula ekikopo ky’Amasaza ekisooka wabula sizoni eno yeegatta ku Buddu n’omutendesi we Simon Mugerwa.