Omutendesi wa URA eby'okusigala ku ttiimu eyo biri mu lusuubo

Isabirye eby’okusigala ku ttiimu eno biri ku ‘waya’.

Omutendesi wa URA eby'okusigala ku ttiimu eyo biri mu lusuubo
By Hussein Bukenya
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Mutendesi #URA

OMUTENDESI wa URA, Alex Isabirye eby’okusigala ku ttiimu eno biri ku ‘waya’.

Kiddiridde ensonda okutegeeza nga abamu ku bakama be bwe baagala okufuna omutendesi omulala nti kuba Isabirye, tabawadde kye baali bamusuubiramu. Isabirye eyazannyirako ttiimu eno, omulimu guno yagufuna ku ntandikwa ya sizoni ewedde ne bamalira mu kyokuna.

Mubiru

Mubiru

Agava mu URA galaga nti wiikendi eno, boodi lw’etuula okutunula ku ky’okusigaza Isabirye oba okufuna omulala.

Akulira emirimu mu URA FC, Allan Munaaba yategeezezza nti boodi egenda kutuula wiikendi eno okulaba ekiddako. “Endagaano ya kooci ekyaliko ekitundu ky’omwaka era akaseera kano toyinza kugamba nti talina ttiimu wabula tugenda kutuula tulabe bwe tukikola,” Munaaba bwe yategeezezza.

Isabirye yagambye nti tannawulira ku kya kumugoba kuba endagaano ye ekyaliko wabula akawaayiro akagirimu kakkiriza enjuuyi zombi okwawukana bwe wabaawo olutali lusanyufu nga tennaggwaako.

Isabirye

Isabirye

“Emirimu gyange ngikoze bulungi era endagaano yange ekyaliko wabula bwe kifuluma nti bantadde tekyewuunyisa kuba akawaayiro katukkiriza okwawukana nga tennaggwaako,” Isabirye bwe yategeezezza.

Abdallah Mubiru, eyali mu KCCA ne Badru Kaddu ‘Kooci KB’ be bamu ku bagambibwa okutunuulirwa ku mulimu guno.

Mubiru talina ttiimu ate Kaddu y’atendeka Express0. Ensonda zaalaze nti URA yatuukiridde dda Mubiru wabula nga bakyalinze nsonga za Isabirye kukutuka.

 

Mu ngeri y’emu, omutendesi wa SC Villa, Morley Byekwaso ebibye bibi oluvannyuma lw’amawulire okufuluma nti yandigobwa n’asikizibwa Omuzungu.

Villa eyawangula ekikopo kya liigi mu sizoni ya 2023/24, sizoni ewedde yamalidde mu kyamusanvu. Morley Byekwaso omulimu guno yagufuna ku ntandikwa ya sizoni ewedde ng’asikira Dusan Stojanovic eyabawangulira ekikopo.