Team ya Vette Fc esitukidde mu kikopo ssaako ne sseddume w'Ente oluvannyuma lw'okuwangula team ya Nabweru Select mu kakodyo kokusimila penealty.

Mmeeya we Nnansana Joseph Matovu ng'afundikira empaka za Nansana Division Tournament
Empaka zino ezaatuumiddwa Nansana Divison Tournament zetabiddwamu teams 28 era zaategekeddwa abakulembeze be Nansana nga bakulembeddwamu Mmeeya wa Nansana Joseph Matovu Ssaalongo era nga zaafundikiddwa olunaku lw'eggulo ku kisaawe e Nabweru.

Mmeeya we Nansana Joseph Matovu Ssaalongo ng'akwasa abawanguzi embuzi