Essomero lya Kawempe Muslim Secondary ligenda kukiikirira Uganda mu mpaka zomupiira gwamassomero ezensi yonna eza ISF World School Football Championships ezigenda okubeera mu kibuga suzhou ekya china okuva nga ennaku zomwezi 17-26 omwezi guno.
Empaka zino ezomulundi ogwa 29 zaakwetabwamu abazanyi 1350 okuva mu mawanga 36 okuli agava e bulaaya, South America, Asia, Oceania ne Africa.

Abasambi nga battunka
Ekibinja kyabasambi 20 kyekyalangiriddwa nga bano kuliko abakwasi ba goolo Sharifa Namutebi ne Haira Nabbosa, abazibizi Jovia Nakirya, Angel Gerevans, Arach Phiona, Babirye Martha, Ashanti Imurinde, Vanessa Namazzi ne Evas Tushemerirwe.
Abawuwutanyi; Agness Nabukenya, Shamira Namukabirye, Tracy Nabalanzi, Cynthia Kirenga, Loyce Komugisha, Tamisi Shafiga ne Ayerango Justine, nabateebi okuli Angel Ainembabazi, Ariho Rina, Grace Kawiino ne Nabirye Shadia.
Kawempe yaakwesigama nnyo ku muyizi tasuba waabwe era kapiteeni waabwe Agness Nabukenya eyaakava ku tiimu yeggwanga eyabadde mu mpaka zokusunsulamu eza olympics.
Mu mwezi gwomunana Nabukenya yayamba tiimu ya kawempe eya liigi okwetikka empaka zabakyala eza CAF Women’s Champions League ezokusunsulamu ezaali mu kibuga kigali ekya Rwanda mweyateebera goolo 4 navaayo nga yasinze okulengera akatimba.

Abasamba nga battunka
Wabula kawempe ssi yaakubeera nabazanyi bana okuli abawuwutanyi Dorcus Kasirye, Adong Mable ne Belinda Hope, nomuzibizi Kevin Nanyunja, abaatudde ebibuuzo bya siniya eyokuna.
Omutendesi wa tiimu Ayub Khalifa mugumu nti abazanyi baagenda nabo basobolera ddala okuteekawo okuvuganya bakomewo nobuwanguzi. “ guno mukisa gwamaanyi eri abazanyi bano okuzanyirako ku mutendera ogwa waggulu kati kiri gyebali okuzannya obulungi beekolere akatale” Khalifa bweyagambye.
Kawempe yateereddwa mu kibinuja kyekimu ne Hong Kong, Germany nabategesi aba China I.
Uganda egenda kukiikirirwa tiimu emu yokka eyabawala oluvannyuma lwa tiimu yabalenzi eya Amus Collge okulemererwa okukiika. Mu mpaka ezaasembayo mu kibuga Dalian ekya china, tiimu ya Amus college eyabawala yatuuka ku luzannya olwakamalirizo mu balenzi ate eyabawala nemalira mu kifo kya musanvu.

Kib 6
Kawempe egenda kufuuka tiimu eyokusatu eyabawala okukiikirira uganda mu mpaka zomupiira ogwebigere eza ISF oluvannyuma lwa Amus College ne Bukedea Comprehensive School.
Ekibinja kya uganda kyabantu 34 kigenda kukulemberwa kamisona webyenjigiriza mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo Rev. Can. Dr Duncan Mugumya. Tiimu yaakuwerekerwako abakungu okuva mu ministry yebyenjigiriza nabakungu okuva mu kibuuna ekiddukanya emizannyo gyamassoemro ga siniya mu ggwanga ekya USSSA nga bakulmbeddwa president waakyo Justus Mugisha