WALIWO abatendesi abayitimukidde mu kiraabu abakyusizza obuufu ne badda ku ttiimu z'amawanga. Bangi ku bano bakyatoba n'okuzza ttiimu z'amawanga ku mutindo.
SAMSON SSEMAKADDE akulaga abatendesi bano;
ZINEDINE ZIDANE
Yawangulira Real Madrid ebikopo 11 wakati wa 2016 ne 2021 omwali ChampionsLeague 3 eziddiriηηana (2016, 2017 ne 2018). Yagyabulira mu May wa 2021 mu ngeri etaategeerekeka bulungi.
Kiraabu za Bulaaya omwali ne ManU zaamwetayirira okumukansa n'azeepena okutuusa
mu July, lwe yaweereddwa okusikira Didier Deschamps ku ttiimu ya Bufalansa.
Yasookedde ku kufalaasira bassita okussa ennyo obwongo ku kuzannya omupiira mu kifo ky'emisono gy’engoye. Yaweze bakinyoozi mu nkambi n'akkaatiriza Kylian Mbappe ne Michael Olise okweyanjulanga nga basaze enviiri nti kuba be basinga okweronda n'emisono. Yaweze ne bannamawulire okukwatanga
Yali kapiteeni wa Arsenal eyawangula Premier nga tekubiddwaamu mu sizoni ya
2003/04. Yasambirako ne AC Milan, Juventus, Inter Milan ne Man City. Nga omutendesi, abaddeko mu New York City, Nice, Crystal Palace, Strasbourg ne Genoa,
XAVI HERNANDEZ
Erinnya yasinga kulikola azannyira Barcelona, mwe yamala emyaka 17 (1998-2015)
n’abawangulira ebikopo 25. Bwe yaddayo nga omutendesi wakati wa 2021 ne 2024, yawangula 2 okwali liigi ne Super Cup. Yagobwa nga ttiimu ekola bubi kyokka nga August 12 Budaaki yamwerondedde nga yasikidde Ronald Koeman, eyalekulira nga World Cup ewedde.
JURGEN KLOPP
Yawangulira Liverpool ebikopo 8 mu myaka 9 (2015 ne 2024), n’agyabulira okugenda okukulira ebyekikugu mu Red Bull ku ndagaano ya myaka 4. Wabula mu July w’omwaka guno, yaweereddwa obutendesi bwa ttiimu y’eggwanga eya Girimaani ng’adda mu bigere bya Julian Nagelsmann, eyalekulira olwa ttiimu okukola obubi mu World Cup.
Klopp era ali ku ndagaano ya myaka 4 nga yatandikidde ku kussaawo mateeka galeeta mpisa mu basambi. Omuzannyi talina kukeerewa wadde eddakiika emu ku ssaawa y'emmere, tewali akkirizibwa ssimu nga ttiimu erina omupiira, yaweze abakyala baabwe ne bakinyoozi nga ttiimu eri mu nkambi
GRAHAM POTTER
Atendese ttiimu eziwerako mu Premier okuli; Brighton (2019-2022), Chelsea (emyezi 7) ne West Ham (January - September 2025). Yagobwa West Ham ng'eri mu kifo kya 19. Wadde byagaana ku kiraabu, Sweden yamuwa obutendesi n'agitwala mu World Cup
BENNI McCARTHY
Mu July wa 2022, yaweebwa obutendesi bw’abateebi ba ManU kwe yamala emyaka 2.
Yaweebwa omulimu gwa Kenya mu March w'omwaka oguwedde.
JULEN LOPETEGUI
Atendese kiraabu eziwerako okuli FC Porto, Real Madrid, Sevilla, Wolves ne West Ham. Awasinga bigaanyi n'agobwa. Kyokka nga May 1 2025, yaweebwa obutendesi bwa Qatar, n'agitwala mu World Cup ya 2026 wadde Lopetegui e Qatar. tebaavudde mu kibinja