Amannya : Kyagulanyi Sekayi Solomon
Emisinde : mmita 100 ne 200
Kiraabu: Makerere University Athletics club
Emyaka : 17
Mutabani wa pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform(NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu, Solomon Kampala y'omu ku bajjumbidde emisinde gy’eggwanga egy'okusunsulamu abaddusi abanaakiikiririra eggwanga mu mpaka ezenjawulo ebweru w'eggwanga egya National Athletics Trials egy'omulundi ogwokuna nga egyabadde e Namboole ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.
Guno gwe gubadde omulundi gwa Kampala ogusoose okuvuganyiza ku mutendera gw’eggwanga nga yavuganyizza mu mbiro za mmita 100 ne 200.
Mu mbiro za mmita 100 Kampala yaddukidde mu kibinja kyakusatu nga mmita 100 yazidukidde sekonda 12: 26 okumalirira mu kifo ekyokuna nga ekibinja kye kyawanguddwa Kenneth Opiyo nga yaddukidde ssekonda 11:49.
Oluvannyuma Kampala yavuganyiza ne mu mbiro za mmita 200 nga muno yabadde mu kibinja kyamusanvu nga yamalidde mu kyakusatu oluvannyuma lw'okuddukira ssekonda 24:72 nga ekibinja kye kyawanguddwa Esau Emanuel mu ssekonda 23:44
Kampala addukira mu kiraabu ya Makerere University Athletics club gye yeegattako mu January w’omwaka guno.
Baddusi banne boogedde
Fred Oija nga yoomu ku baddusi ba kiraabu ya Makerere University Athletics club Solomon Kampala mw'addukira ategeezezza nti okusinziira ku bumaliririvu n’okwagala Kampala kw'ayolesa mu misinde yandifuuka omu ku baddusi ab’ensonga wano mu ggwanga.
Solomon Kampala Ow'okubiri Emabega Bwabadde Yaakava Mu Mbiro Za Mmita 200
“Solomon mukkakkamu ate nga amanyi ky'ayagala. Yaakaddukira Makerere emyezi ena okuva lwe yajja. Abatendesi bamuyambako okulaba nga atuukiriza ekirooto kye ekyokufuuka omuddusi asinga. Mmanyi mu myezi ena okuva kati ajja kuba mmita 100 aziddukira ssekonda 10,” Oija bwe yategeezezza.
Ab’ekibiina ky’emisinde kye bagamba
Namayo Mawerere , amyuka omuwadiisi w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde ekya Uganda Athletics Federation ategeezezza nti musanyufu nnyo okulaba nga abavubuka naddala batandise okwettanira omuzannyo gw’emisinde.
“Omuzannyo guno gutandise okufuna ettutumu mu baana n'abavubuka era nga tulina enteekateeka okulaba nga emisinde twongera okugibunyisa mu mugigi omuto. Mumanyi bulungi nti emisinde gye gikyasinze okuwangulira Uganda emidaali nga tekyewuunyisa kuba nga gisikiriza abaana nga abo,” Mawerere bwe yatangaazizza.