Police FC etandise na maanyi mu za Big League

Mugerwa yalabye guli gutyo kwe kuyingiza Herman Wasswa, Tonny Kiwalazi, Kalanzi ne Obedi abazzizza Police engulu nga bayita mu ggoolo ya Kalanzi eyazze mu ddakiika eya 66 n’eya Obedi mu y’e 90 okuwangula (2-1).

Mugerwa ng'ayogerako n'abazannyi be.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Big League #Young Elephants FC #Simon Peter Mugerwa #Police FC #NEC FC

Egyazannyiddwa mu Big League

Police 2-1 Young Elephants FC

Leero (Lwakusatu)

Lugazi FC - Ndejje University, Kawolo

DENIS Kalanzi ne Brian Obedi bavudde ku katebe okutakkuluza Police FC ku Njovu ento (Young Elephants FC) bwe baateebye ggoolo 2-1 okuwangula omupiira ogwasoose mu Big League sizoni eno.

Eggulo omutendesi wa Police, Simon Peter Mugerwa yasanze akaseera akazibu ku kisaawe kyabwe e Kavumba, Young Elephants ng’eyita mu ggoolo ya James Oola bwe yabasibye enkalu n’ebakulembera ggoolo (1-0) okumala eddakiika 60 ezaasoose.

Mugerwa yalabye guli gutyo kwe kuyingiza Herman Wasswa, Tonny Kiwalazi, Kalanzi ne Obedi abazzizza Police engulu nga bayita mu ggoolo ya Kalanzi eyazze mu ddakiika eya 66 n’eya Obedi mu y’e 90 okuwangula (2-1).

Steven Kabuye owa Police FC (wakati) ng'attunka n'aba Young Elephants FC

Steven Kabuye owa Police FC (wakati) ng'attunka n'aba Young Elephants FC

Mugerwa agamba nti Young Elephants yasoose kuginyooma kuba ttiimu mpya mu liigi wabula ate yeesanze nga bazannyisa bumalirivu nnyo oluvannyuma lw’okukizuula nti Police FC yabadde ebasingako obumanyirivu era wano kwe kukola enkyukakyuka n’ayingiza abazannyisa amaanyi okusingako abo ab’akawoowo.

“Ttiimu mbadde sigitegeera nzannya yaayo naye oluvannyuma lw’ekitundu ekisooka, nnabadde nfunye ekifaananyi ekituufu y’ensonga lwaki ggoolo zizze kikeerezi naye tugenda kwongeramu amaanyi,” Mugerwa bwe yategeezezza.

Police FC sizoni ewedde yalemererwa watono okukomawo mu ‘super’ bwe yamalira mu kifo kyakuna emabega wa NEC FC, Mbarara City FC ne Kitara FC eyakulembera Big League. Police ekomawo mu nsiike ku Lwomukaaga ng’ettunka ne Jinja North United ku kisaawe kya Kyabazinga ate Young Elephants FC ekyaza Calvery FC.