Leero mu Uganda Cup
Calvary - Lugazi e Yumbe
Police - Bright Stars e Kavumba
BUL - Bugoigo Leopards
EMPAKA za Uganda Cup ziddamu leero n’emipiira 3 nga ttiimu za ‘Super’ ziwaga kwesogga luzannya lwa ttiimu 16.
Omupiira ogusinze okwesungibwa gwa Police ne Bright Stars zombi ezizannyira mu liigi ya babinywera nga zitidde okwegatta ku Express, Mbale Heroes ne Mbarara City ezaasoose okuwanduka.
Police ne Bright Stars zombi zikyaliza Kavumba mu Wakiso nga buli emu ewera kulaga bukodyo bupya n’okulaga asinga okuganyulwa mu kisaawe kino. Mu liigi, baakola (1-1) wabula bwe baasisinkana mu Uganda Cup omwaka oguwedde, Police eyali mu Big League yawuttula (4-0).
Mu liigi, zombi zirwana butasalwako nga Police ebulayo ekifo kimu (1) okukkirira mu zisalwako ate Bright Stars y’eddiridde ekoobedde. Simon Mugerwa atendeka Police agamba nti balina okuwangula omupiira guno kuba Bright Stars bagisobola.
Mu ngeri y’emu, ttiimu endala eya ‘Super’ Lugazi ng’etendekebwa Steven Bogere egenze Yumbe okuttunka ne Calvary ezannyira mu Big League.
BUL eyawangula ekikopo kino mu 2020, ekyalidde Bugoigo Leopards ey’e Buliisa. Bugoigo ezannyira mu kibinja kyakusatu.