Vipers bayingidde mu lubu lwa bassaalongo

EKISAAWE kya Akii Bua mu disitulikiti y’e Lira kisaanikiddwa enduulu, essanyu n’amaziga nga Vipers SC esajjakula okufuuka Ssaalongo wano mu ggwanga bwe yamezze Police FC (1-0) ku fayinolo ya Stanbic Uganda Cup.

Vipers
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

Mu Stanbic Uganda Cup

Police 0-1 Vipers SC

EKISAAWE kya Akii Bua mu disitulikiti y’e Lira kisaanikiddwa enduulu, essanyu n’amaziga nga Vipers SC esajjakula okufuuka Ssaalongo wano mu ggwanga bwe yamezze Police FC (1-0) ku fayinolo ya Stanbic Uganda Cup.

Kapiteeni Milton Karisa ye yabadde enjawulo ng’ateeba ggoolo yokka eyayingizza Vipers SC mu byafaayo bya ttiimu kati nnya (4) okuli; SC Villa Joogo, KCCA FC ne Express FC ezaali ziwanguddeko ekikopo kya liigi enkulu (Star Times Uganda Premier League) ne Stanbic Uganda Cup mu sizoni y’emu.

Vipers ezze yeekulula mu kikopo kino ng’eyitirawo mu penati emirundi egisinga era n’eggulo Police yabasinze okuzannya naye ggoolo ne zigaana.

Vipers

Vipers

Ku mutendera gwa ttiimu 64, baggyamu Bujjumbura FC ku penati (6-5), ku ttiimu 32, baggyamu Jinja North ku penati (7-6), ku ttiimu 16, baggyamu Wakiso Giants FC ku pebnati (4-3).

Ku ‘quarter’ baggyamu Calvery ku ggoolo (4-1), ku semi ne gawandulamu Bright Stars ku mugatte gwa ggoolo (4-1).

Vipers yasitukidde mu bukadde 50 okuva mu Stanbic wamu n’ekikopo ate Police yaweereddwa obukadde (25), ttiimu bbiri ezaawandukira ku ‘semi’, buli emu obukadde (12.5), ttiimu 4 ezaawandukira ku ‘quarter’ buli emu obukadde 6, ttiimu 8 ezaaviiramu ku mutendera gwa 16, buli emu obukadde (3), ttiimu 16 ezaawandukira ku mutendera gwa 32, buli emu obukadde bubiri.

Abazze bawangula Uganda Cup

SC Villa (2000, 2002, 2008/09, 2014/15)

Express (2001, 2003, 2006, 2006/07)

KCCA (2004, 2017, 2018)

URA (2005, 2011/12, 2013/14)

Victors (2007/08, 2009/10)

Simba (2010/11)

Victoria University (2012/13)

Vipers SC (2015/16, 2020/21, 2022/23)

Proline (2019)

COVID-19 (2019/20)

BUL (2021/22)