ABAZADDE b’omwana Gift Tukomushabe ow’emyaka 15 basattira olw’omwana waabwe okubula mu kisulo ky’essomero nga kati wiiki bbiri n’ekitundu talabikako.
Dianah Nakato omutuuze w’e Kitintale zooni 11, maama wa Tukomushabe asobeddwa eka ne mou kibira olw’okubula kw’omwana we.

Ffayiro Y'omusango Gw'okubula Kw'omwana Gye Bagguddewo.
Nakato yategeezezza nti baaamukubira essimu nga bamutegeeza nga omwana bwe yali abuze ku ssomero, naye kwe kusitukiramu n’agenda ku ssomero alabe ogubadde era yagenda okutuukayo nga ddala omwana taliiyo.
Yatandika okubuuza abasomesa bamubulire amayitire g’omwana we kyokka nga nabo bamutegeeza nga bwe batamanyi gy’ali.
Nakato agamba nti nga ab’essomero, baddukira ku poliisi y’e Katabi ne baggulawo omusango gw’okubula kw’omwana ku SD: 09/02/06/24.
Oluvannyuma beeyongerayo ku poliisi y’e Entebbe nga banoonya omwana kyokka n’ababula. Agamba nti mu kiseera kino bali mu kusoberwa nga tebamanyi ddala kituufu ki ekyatuuka ku mwana waabwe nga n’essomero agamba nti terikoze kimala kubanga ebbanga eriyiseewo ddene nga kati tebamanyi kyakuzzaako.
Ali Walubya, kitaawe w’omwana yagambye nti embeera yakyuka awaka kubanga tewakyali mulimu gwe basobola kukola kubanga babeera mu kunoonya mwana buli kadde.

Bazadde B'omwana, Dianah Nakato (ku Kkono) Ne Ali Walubya (ku Ddyo) Nga Basobeddwa.
Ssentebe w’e Kitintale zzooni 11 David Wasiiye asabye buli alina ky’amanyi ku mayitire g’omwana ono okuvaayo ayambeko kubanga basobeddwa era banoonyezzaako ne ku kyalo kyonna nga talabika.
Kyokka asabye ab’essomero okutwala obuvunaanyizibwa banoonye omwana kubanga omuzadde yamubakwasa bulungi nga yabulira mu mikono gyabwe.
Akulira essomero lya Silver Star Primary School , Theopista Najjemba akkirizza nti omwana ono yali ku ssomero kyokka nga baalabira awo nga tebakyamulaba. Yagambye nti baddukira ku poliisi ne balanga buli wamu kyokka tennabaayo mawulire ga kulabika kwe.
Ayongeddeko nti baakwatagana n’abazadde n’abantu bonna okufuba nga bwe basobola okulaba ng’omwana ono azuulwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga poliisi bw’ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku kubula kw’omwana ono era nga mu kiseera kino ffayiro yatwaliddwa ew’omuwaabi wa Gavumenti.
Ayongedde n’akinogaanya nti poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza era egenda kuddayo ku ssomero ne mu mikwano gy’abayizi baddemu babuulirize okuzuula ekituufu.
Kyokka alabudde ab’amasomero okwongera okuteekawo amateeka amakakali agalung’amya amasmero gano naddala ku baana kiyambeko okubakuuma obulungi.