OLUVANNYUMA lw’okumegga Omunigeria Emmanuel Osuji, Munnayuganda Alex Mastiko yeepikira kusitukira mu musipi gwa Mixed Martial Arts (MMA) ogwa Afrika.
Mastiko ng’asinze kumanyikwa mu kuzannya ensambaggere, yakubye Osuji tonziriranga mu laawundi eyookusatu mu lulwana ezaabadde ku Serena Hotel mu Kampala ku wiikendi.
Mastiko ng'ajaganya olw'obuwanguzi bwe yafunye.
Battunkidde mu buzito bwa ‘middle’ kkiro 75. Mastiko eyakazibwako erya ‘Lion Heart’, yazze mu lulwana ne Osuji yeeyita ‘The Fearless Dragon Of Abuja’, bazze mu lulwana luno nga buli omu awanda muliro kyokka Matsiko n’akuba Omunigeria n’aboloogera mu miguwa era ddiifiri n’asazaamu olulwana luno.
Luno lwe lulwana lwa Mastiko olwasoose mu muzannyo guno ogugatta ebikonde, ensambaggere, akabadiya n’enkokola.
Mastiko (ku kkono) ng'attunka n'Omunigeria.
Mu nnwaana endala, mwabaddemu abazannyi abaavudde mu nsi okuli; Nigeria, Kenya, DR Congo, South Afrika, Ethiopia n’endala.
Mu ndala, Lawrence Mukiibi yakubye Omucongo Kevin Fashigabo, Rebecca Among yakubiddwa Omunigeria Juliet Chukwu, Joseph Bonane owa Uganda yakubye Shifa Awal owa Ethiopia, Raymond Acutt owa South Afrika yakubye Munnayuganda Henry Kirwangwa, Umar Kasozi yakubye Omunigeria Peter Njuguna n’endala.