Owensambaggere alaalise okumegga Omunigeria mu nsambaggere

Matsiko waakuttunka n'Omunigeria Osuji mu October w'omwaka guno. Ssente ezinaava mu nnwaana ze ezimu zaakuyamba ku baana abalina obulwadde bwa siikoseero.

Omukubi w'ensambaggere Matsiko.
By Samson Ssemakadde
Journalists @New Vision
#Kick boxing #Alex Matsiko #Emmanuel Osuji Onyemaechi #A-Class style

OMUZANNYI w’ensambagere Alex Matsiko yeeyamye okulwanyisa obulwadde bwa sikoseero mu baana abato ng’ayita mu nnwaana z’agenda okwetabamu.

Matsiko nga nzaalwa za Kitooma mu disitulikiti y’e Kabale, yabyogeredde ku Mulago Guest House bwe yabadde assa omukono ku ndagaano n’aba IZONE MMA abategese olulwana lw’agenda okuttunka n’Omunigeria Emmanuel Osuji Onyemaechi mu October w’omwaka guno.

“Nsazeewo emyaka gyange egy’okulwana ngiweeyo mu kulwanirira ebyobulamu by’abaana nga ssente ezinaava mu lulwana luno ng’enda kuba nziwaayo mu pulojekiti y’okulwanyisa obulwadde bwa sikoseero," Matsiko bw’agamba.

Ono alina ennwaana za pulofesonolo 20 ng’awanguddeko 16 mw’akubidde tonziringa 8, wabula ng’akubiddwaamu nnya ng’alwanira ku ddaala lya (A-Class) mu buzito bwa light weight.