Omuddusi w’emisinde egy’okwetooloola ebyalo, Jackob Kiplimo ayongedde okugwa mu bintu bannamawulire abawandiika ag’emizannyo bwe bamulonze ku buzannyi bw’omwezi gwa March.
Babadde bamusiima okuwangula emisinde gya New York Half Marathon gye yeetabyemu omulundi ogusooka nga yagiddukidde essaawa 1:01:03 nga yaddiriddwa Joshua Cheptegei.
Kiplimo era yawangula ekirabo kya Nile Special USPA Monthly Award ekya February bwe yawangula emisinde gya World Cross Country. Yamezze abavuzi ba mmotoka z’empaka, Yassin Nasser ne Ali Katumba (asoma maapu) nga bano baakutte kyakubiri mu mpaka za Equator Rally e Kenya.
Ku birabo ebipya ebisatu ebyassiddwaawo okwongera okusiima abeenyigira mu mizannyo, bannamawulire baalonze Rogers Mato owa KCCA eyateebedde Cranes ng’ewangula Tanzania mu kibuga Dar es Salaam ng’eno yazzizza Uganda mu kibalo ky’amawanga agalwanira okukiika mu AFCON 2024.
Ono yawangudde eky’omuntu asinze okyamba ttiimu okutuuka ku buwanguzi nga yafunye obubonero 320 n’amegga omutendesi wa Kobs eya rugby, Brian Makarama eyafunye 260 olwo Simon Peter Mugerwa omutendesi eyatuusizza Busiro ku bwakyampiyoni bw’ekikopo ky’Amasaza ekya 2022.
Bammemba ba USPA mu lukiiko olwabadde ku Imperial Royale.
Omutendesi Jean Senninde yakutte kyakuna ku bubonero 215. Ku ky’omuzannyi asinze ttalanta mu March, baalonze omuzannyi wa rugby, Aron Tukei owa ttiimu ya Buffalo n’addirirwa Abubakery Walusimbi omuwuwuttanya wa St. Mary’s Kitende ne Gloria Aya omubasi w’essomero lya St. Noah.
Mu ngeri y’emu, omuvujjirizi w’emizannyo, Lily Lameck avujjirira omuzannyo gw’okusimba emifumbi ye yalondeddwa olw’okuyimirizaawo kiraabu ttaano ng’omwezi oguwedde yatuusizza ebikozesebwa mu muzannyo guno okubirabira kiraabu.
Abalondeddwa baakutikkirwa omwezi ogujja n’abalala abalondeddwa mu myezi ena egiyise. Mu kiseera kye kimu, pulezidenti wa USPA, Al Sayed Moses Lubega yalangiridde nti omukolo gwa Nile Special / USPA Gala okutikkira abazannyi abaasinga mu 2021 gwakubaawo nga May 27.