Ey'okubaka ento egenda Tanzania

17th October 2022

Omutendesi Hassan Nourdine Kato yalangiridde abazannyi 12 nga bano basuubirwa okulondwamu abanaalikiriza ttiimu enkulu (She Cranes).

Annet Najjuka (ku ddyo) ng'attunka ne Rosette Namutebi mu kutendekebwa.
NewVision Reporter
@NewVision
#She Pearls #She Cranes #Netball
17 views

SHE Pearls ttiimu y’okubaka ey’abatasussa myaka 21, esitula nkya (Lwakubiri) okugenda mu mpaka z’omukwano ne Tanzania ez’okubeerawo wakati nga October 20-22, 2022.

Omutendesi Hassan Nourdine Kato yalangiridde abazannyi 12 okuli; abateebi Christine Namulumba (Prisons), Asinah Kabendela (Weyonje), Mercy Batamuliza (KCCA) ne Shamirah Iyekoru (UCU). Abazibizi; Privas Kayeny (NIC), Aisha Amuge (UCU), Viola Asingo (Prisons), Shakira Nassaka (Weyonje) ne Christine Nakitto (KCCA) be bayitiddwa. Mu bawuwuttanyi mulimu; Sarah Nakiyunga (NIC), Annet Najjuka (KCCA) ne Lilian Achora (Weyonje).

Okusinziira ku Sarah Babirye Kityo, pulezidenti w’omuzannyo guno mu ggwanga e kiseera kino bagezaako kuzimba bitone ebinaaziba ebituli by’abamu ku bazannyi ba She Cranes abatandise okuddirira mu mutindo.

 

“She Cranes beetegekera World Netball Cup ey’okubeerawo nga July 28 ne August 6, 2023 mu Cape Town, South Africa. Ez’omukwano zino zijja kutuyamba okufuna abazannyi be twongera ku ttiimu enkulu,” Babirye bwe yategeezezza.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.