Bya GERALD KIKULWE
Ku wiikendi mu nsisinkano eyasookedde ddala wakati w’abakungu ba NCS n’abakulembeze b’omuzannyo abaggya e Lugogo, Ssaabawandiisi wa ‘NCS’ Bernard Patrick Ogwel yabakuutidde obutaba bassemugayaavu wabula abakozi abeesaddaaka ku lwekulaakulana y’omuzannyo.
Ogwel ng'ayogera
Bano bajjukiziddwa ezimu ku mpaka ze balina okutandika okusalira entotto okulaba nga ttiimu z’eggwanga ‘She Cranes ne She Pearls’ zizeetabamu awatali kwekwasa nsonga yonna ssinga Corona tazitaataaganya.
Abakulembeze abaggya be baalonda
Muno mwe mwabadde eza ‘African Netball Championship, World Cup y’abali wansi w’emyaka 21 egenda okubeera e Fiji, emizannyo gya Common Wealth mu kibuga Birmingham ekya Bungereza ku ntandikwa y’omwaka ogujja n’endala nnyingi.
Brig. Byekwaso
“Kibadde kya buvunaanyizibwa okusisinkana abakulembeze b’okubaka nga tebanakwasibwa nkasi mu butongole, tebalina kuliisa bijjanjaalo mpiso kuba guno gwe gumu ku mizannyo egisinze okutunda Uganda, ‘She Cranes yeetabye mu World Cup emirundi esatu (1979, 2015 ne 2019). Kati tubawagadde ku kye balina okukola okwongera okusitula ekitiibwa ky’omuzannyo,” Ogwel bwe yategeezezza.
Sarah Babirye Kityo pulezidenti w’omuzannyo omuggya yasiimye NCS okubawagala era n’abasaba obutabakoowa wabula kiseera kyonna bakkirize okubeebuuzaangako okukendeeza ku nsobi ezandikoleddwa mu kukulaakulanya omuzannyo.
Babirye gwe baalonze ku bukulembeze obupya
Brig. Gen. Flavia Byekwaso omumyuka wa Pulezidenti asooka, yasabye NCS okubalwanirira, okubaka kusobole okwongezebwa ku ssente ku mbalirira y’obuwumbi obubiri nti temala.
Wiiki bbiri emabega abakiise 231 balonda Sarah Babirye Kityo ku bwapulezidenti bw’omuzannyo, Brig. Gen. Flavia Byekwaso(Mumyuka asooka), Richard Muhumuza(Mumyuka ow’ebyekikugu),Amina Mande(Ssaabawandiisi), Harriet Margret Apolot(Mumyuka), Aida Nambuusi Kibedi(Muwanika) ne Yahaya Ssengabi(Mwogezi).
Comments
No Comment