Nneegomba okuzannyira ttiimu y'okubaka ebweru w'eggwanga - Baagala

28th November 2022

“Okuwangula ekirabo eky’omuzannyi asinze obulungi mu mpaka zino kyampadde essanyu lingi era nneebaza abatendesi abantaddemu obwesige okuzannya ku ttiimu y’eggwanga.”

Baagala (ku ddyo) ng'azannya omupiira gwa liigi. Baabadde battunka ne KCCA gye buvuddeko.
NewVision Reporter
@NewVision
#Netball #Fast Five World Netball Series #Jamaica #She Cranes #Margaret Baagala
11 views

Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka She Cranes, Margaret Baagala aloota kufuuka pulofeesono. Mu kaseera kano Baagala y’omu ku bazannyi abasinga okuzannya mu makkati, era agamba nti ayagala asigale ku mutindo asobole okufuna kiraabu y’ebweru w’eggwanga emukansa.

Gye buvuddeko, Stella Oyella yeegasse ku ttiimu Siren eya Scotland ne yeegatta ku Bannayuganda abalala okuli Peace Proscovia ne Mary Nuba abaasooka okufuuka bapulofeesono.

Baagala ng’awaka azannyira kiraabu ya NIC y’omu ku baakiikiridde eggwanga mu mpaka za Fast Five World Netball Series ezaabadde mu New Zealand, She Cranes gye yamalidde mu kifo ekyokutaano.

Ono yabadde mpagiruwaga nga Uganda emegga Jamaica ku ggoolo (33-22) era n’alondebwa ng’omuzannyi asinze okwolesa omutindo omulungi, ky’agamba nti awulira yandyagadde okuzannyira ttiimu ennene endala ezirimu okuvuganya okw’amaanyi.

“Okuwangula ekirabo eky’omuzannyi asinze obulungi mu mpaka zino kyampadde essanyu lingi era nneebaza abatendesi abantaddemu obwesige okuzannya ku ttiimu y’eggwanga,” Baagala bwe yategeezezza.

Baagala n'ekirabo kye yawangula ng'omuzannyi asinze e New Zealand.

Baagala n'ekirabo kye yawangula ng'omuzannyi asinze e New Zealand.

Okwegatta ku She Cranes, Baagala yasooka kuzannya ku ttiimu y’abato eya She Pearls mu 2019 nga ttiimu enkulu yagyegasseeko mu 2021 nga yali ku ttiimu eyawangula ekikopo kya Pent Series wamu n’okumalira mu kifo kyokubiri mu za Afrika e Namibia.

Mu 2021, Baagala yayamba NIC gye yeegattako mu 2020 okuwangula ekikopo kya East Africa wamu n’ekya liigi ng’alina ekirooto ky’okuzannya omupiira ogw’ensimbi.

“Mmanyi nga lumu ndizannyako omupiira gw’ensimbi ebweru w’eggwanga. Kye nnina okukola ennyo okusigala nga nneekuumidde ku mutindo okusobola okusigala ku mutindo,” Baagala bwe yakkaatiriizza.

Baagala bw’aba tazannya muzannyo gwa kubaka abeera mu basketball gw’azannyira mu kiraabu ya KU Lady Eagles ng’era muyizi ku ttendekero kya Kamapala University.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.