Eya cricket tewena

CRICKET Cranes, ttiimu y'eggwanga eya cricket, yeddizza empaka za 'Pearl of Africa T20 Series' bwe yakubye United Arab Emirates ku bugoba 8.

Eya cricket tewena
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Cricket #Byamizannyo

CRICKET Cranes, ttiimu y'eggwanga eya cricket, yeddizza empaka za 'Pearl of Africa T20 Series' bwe yakubye United Arab Emirates ku bugoba 8.

Anas Baig

Anas Baig

Empaka zino zaabadde ku Entebbe Cricket Oval nga Uganda yazimazeeko
n'obubonero 12 okuva mu mizannyo 6 gye yavuddemu nga tekubiddwa.

Obuwanguzi, bwayambye Uganda okulinnya mu nsengeka z'ensi yonna eza T20I. Omwaka guno, Cricket Cranes erina okwetaba mu z'okusunsulamu abalizannya empaka z'ensi yonna eza ICC Men’s T20 World Cup Africa Qualifiers.

Anas Baig, omuyizi ku yunivasite ya ISBAT, y’omu ku baasitudde Uganda ng'ono mu mizannyo egimu okuli ogwa Namibia, yalondeddwa ng'omuzannyi w'olunnaku.