Rugomoka awangudde eza Forest Resort Park e Buloba n’awaga

BYRON Rugomoka kyampiyooni w’engule y’eggwanga ey’emmotoka z’empaka omwaka oguwedde, awangudde ezaakafubutuko ezibadde ku Forest Resort Park e Buloba n’awaga okufiira ku banne mu za FIM Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally omwezi ogujja (May 5-7).

Rugomoka awangudde eza Forest Resort Park e Buloba n’awaga
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

FMU Nkozi Hospital Fundraising Sprint

Byron Rugomoka 03:57.3

Yasin Nasser 3:57.4

Joshua Muwanguzi 3:58.1

Ibrahim Lubega Pasuwa 04:01.1

Godfrey Kiyimba 04:03.9

BYRON Rugomoka kyampiyooni w’engule y’eggwanga ey’emmotoka z’empaka omwaka oguwedde, awangudde ezaakafubutuko ezibadde ku Forest Resort Park e Buloba n’awaga okufiira ku banne mu za FIM Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally omwezi ogujja (May 5-7).

Eggulo Rugomoka yavugidde eddakiika 03:57.3 okutolontoka olugendo lwa kiromitta 6.88 n’amaliriza ng’amezze banne abalala 35 abeetabye mu mpaka zino.

Zaategekeddwa n’ekigendererwa okusondereko ssente obuwumbi 3 okuyambako mu kumaliriza ekizimbe ku ddwaliro ly’e Nkozi omugenda okujjanjabirwa abafunye obubenje ekibadde kyalemera ku musingi okumala emyaka etaano emabega.

Rugomoka yaddiriddwa Yasin Nasser eyavugidde eddakiika (3:57.4), Joshua Muwanguzi (3:58.1), Ibrahim Lubega Pasuwa (04:01.1), Godfrey Kiyimba (04:03.9) n’abalala.

Empaka za FIA 2023 Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally zaakuvugibwa ku wiikendi ya May 5-7 mu bitundu by’e Lugazi-Buikwe n’e Magamaga-Jinja.

Ku lunaku lwe lumu, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga eyabadde omugenyi omukulu ng’empaka zino zigenda mu maaso, yakwatiddwa ekinyegenyege neyeesiba emisipi n’asomera Yasin Nasser maapu ne bamalira mu kifo kyakubiri ku bavuzi 36 abeetabyemu.

Mmotoka ya Yasin Nasser mu mpaka

Mmotoka ya Yasin Nasser mu mpaka

Katikkiro yawereddwaako Dipu Ruparelia (pulezidenti w’omuzannyo gwa mmotoka z’empaka), omumyuka we Reynold Kibira, Godfrey Kirumira owa bagagga kwagalana mu Kampala n’abalala nga baayaniriziddwa Joseph Lutalo Bbosa nnannyini Forest Resort Park e Buloba empaka gye zaabadde.

Nga taneesiba musipi kwesogga mmotoka okusoma maapu yasoose kulambula nnyiriri za baddereeva bonna abeetabyemu nga bw’ababuuzaako ekyawadde abawagizi essanyu kuba baafunye akadde okusemberera Katikkiro n’okumulabako.

Bbosa yasabye FMU waakiri buli mwaka emuweeyo empaka ezaakafubutuko asobole okukozesa ekisaawe kino okudduukira abalala abali mu bwetaavu obw’enjawulo mu ggwanga.

Yakakasizza nti ssente zonna ezaakung’aanyiziddwa mu zaakafubutuko zino zaakukwasibwa eddwaliro ly’e Nkozi okukola omulimu gw’okumaliriza ekizimbe ky’abafuna obubenje ku luguudo lw’e Masaka.

Rugomoka

Rugomoka