Mountain Dew Motocross Championship
LEERO Ssande bannayuganda abavuzi ba ddigi z’empaka 67 lwe battunka mu za laawundi eyookuna ku kalenda y’engule z’eggwanga ez’enjawulo nga balwanira obubonero obubateeka mu bifo ebisava.
Empaka zino zimanyiddwa nga ‘Mountain Dew Motocross Championship’ nga ziyiribira ku kisaawe kya Kyakaigo Sports Arena mu Kibuga Fort Portal era guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri ekisaawe kino okutegekerwamu ddigi bukya kiggulwawo mu butongole omwaka oguwedde.
Kisitu Mayanja omumyuka wa pulezidenti wa FMU avunaanyizibwa ku kutegeka empaka za ddigi mu ggwanga agamba nti abavuzi bamaze wiiki ewedde yonna nga beegezaamu ku kisaawe kino empaka kwe ziyindira leero era bonna ebyuma baamaze dda okubiwagala balinze ssaawa yokka.
Kisitu agattako nti ng’oggyeeko abavuzi okulwanira obubonero ku ngule ez’emitendera egy’enjawulo, empaka zino zigenda kweyambisibwa okutegekerako abavuzi abagenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna n’eza Afrika.
“Tulina empaka ez’amaanyi z’ensi yonna (FIM Junior motocross championship) ez’okuvugibwa mu mitendera esatu okuli; MX 65, MX85 ne MX125 mu July w’omwaka guno mu kibuga Budapest ekya Romania.
Ate eza Afrika (FIM motocross of African Nations) zaakubeera mu kibuga Cape Town ekya -South Africa wakati wa August 11-13. Tugenda kweyambisa eza laawundi eyookuna zino okuwawula ttiimu eneetukiikira,” Mayanja bwe yakakasizza.
Abavuzi abatunuuliddwa okuteekawo omutindo n’okukyamula abawagizi leero kuliko;
Hellena Birungi Ainomugisha akulembedde omutendera gwa MX50 Pewee n’obubonero (177), Jamairah Makumbi akulembedde MX50 senior abakazi ku bubonero (180), Jude Kyle Musedde akulembedde MX 50 senior abasajja ku bubonero (175).
Jonathan Katende akyaleebya omutendera gwa MX65 abasajja n’obubonero (151), Malcom Gift Tabula Ssebuguzi ali ku ntikko ya MX85 abasajja n’obubonero (180), Agnes Nakanwagi MX85 abakazi (157).
Milton Akaki ali waggulu mu MX125 n’obubonero (166), Wazir Ali Omar MX2 (167), Fatuh Kiggundu MX1 (103), Juncture George Sserugunda MX Vets (133), James Micheal Akena MX Masters (180).