BW’OTAFUGA busungu, weekanga okoze ekintu ky’oyinza okwejjusa obulamu bwo bwonna.
Omuntu alina obusungu obungi bw’anyiiga yenna aswakiira ne yeepika okukira enswera, abamu obusungu bubakaabya, okuyomba oba okulwana.
Era bw’otafuga busungu bwo weekanga olwanye, oyombye, abamu bakuba ekisenge, waliyo abeesala sinnakindi okutuusa ku muntu yenna naddala akubeera okumpi obulabe.
Wabula bw’oba osunguwala mangu oba ng’otabuka n’otuuka n’okukola ebintu eby’obulabe eri obulamu bwo oba okukosa abantu abalala, oluusi okukola n’ebiswaza n’oweebuuka, kabonero akalaga nti tosobola kufuga busungu bwo.
OFUGA OTYA OBUSUNGU BWO?
Bwe weesanga mu mbeera ng’eno, kisingako okutambula n’oviira omuntu oyo akunyiizizza oba mu kifo ekikuleetede obusungu okumala ekiseera okutuusa lw’okkakkana .
Mu ngeri yeemu bwe kiba nga gwe kennyini gwe ovaako obuzibu oba nga ggwe ali mu
nsobi, weetonde biggwe kibasobozese mwembi okukkakkana.
Olina okuyiga okwekkakkanya wekka. Fuuka ssenga w’omutima gwo weebuulirire, oyinza okwetonda okusobola okumalawo embeera embi kuba kikuyigiriza
okwekkakkanya mpolampola.
Ate bw’omanya ebintu ebikunyiiza, funa engeri gy’obyewala obiggyireko ddala ebirowoozo, ojja kukkakkana.
Yogerako n’omusawo omukugu mu kubudaabuda abantu otegeere bw’osobola okufuga
obusungu bwo ng’embeera tennasajjuka, n’okola ky’oyinza okwejjusa.