Laawundi esooka ey’empaka ez'okusunsulamu ttiimu y'eggwanga ey’omuzannyo gwa woodball egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z'ensi yonna eza woodball w’oku lubalama lw'ennyanja eza Beach Woodball World Cup ekomekkerezeddwa ku Bunjakko Beach e Mpigi - Buwama n’abawanguzi ab’enjawulo.
Ronald Mulindwa okukulembera omutendera gw’abasajja yakung’aanyizza obubonero 173, Robert Mutibwa mu kyokubiri n’obubonero 178, Israel Muwanguzi kyokusatu n’obubonero 179, Micheal Musasizi 182 ate Moses Agaba Ali ku 183.
Omuzannyi Amina Nalujja nga yeetegeka okukuba akapiira.
Abamu ku bazannyi abasajja abeetabye mu mpaka zino.
“Okuzannya woodball okumala ebbanga kimpa enkizo okusinga ku bazannyi abalala. Njagala mu laawundi eddako nkedeeze ku bubonero bwe nfunye bwe nasobola okuvuganya obulungi nga ntuuse e Malaysia,” Mukoova bwe yategeezezza.
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa woodball mu ggwanga kyakutegeka empaka z’okusunsulamu za mirundi ebiri ng’ezisembayo zaakubaawo nga April 15.
Empaka zino zaasemba kutegekebwa wano mu 2019 nga Uganda yamalira mu kifo kyakubiri nga zaawangulwa Chinese Taipei.