Ab’omuzannyo gwa ludo balidde engule y’omuzannyi w’omwezi gwa November oluvannyuma lw’okuwangula ekikopo ky’ensi yonna mu mpaka za World Ludo Championships ezaabumbujjidde mu ggwanga Nepal ne United Arab Emirates.
Uganda Ludo Doves yamezze Pakistan ku fayinolo ku ggoolo 4-0. Mu lutuula lwa bannamawulire abeegattira mu kibiina kya USPA ku Uganda Olympic Committee (UOC), baalonze ttiimu ya ludo n’ewangula ku bubonero 385 nga yamezze ttiimu ya basketball eya City Oilers eyayiseemu mu z’okusunsulamu okugenda mu bibinja mu mpaka za Afrika. Eno yafunye obubonero 320 n’eya Uganda Hippos (ey’abatasussa myaka 20) eyawangudde empaka za CECAFA n’eyitamu okuzannya eza Afrika. Eno yafunye obubonero 285.
Lwabadde olutuula lwa USPA olusoose mu bukulembeze obuggya nga lwakubiriziddwa pulezidenti w’ekibiina omuggya Al Sayed Moses Lubega.
“Bannamawulire batunuulidde omuzannyo gwa ludo nga gwabadde gwa nkizo mu November. Kiraga nti emizannyo gyonna bagiteekako eriiso ate nga tusuubira nti aba ludo bagenda kwongera okulinnyisa omutindo okusigala ku ntikko mu nsi yonna ate nga gugenda kweyongera amaanyi okuviira ddala ku mitendera gya wansi,” Lubega bwe yategeezezza.
Mu kiseera kye kimu, Lubega ayanjudde bammemba b’olukiiko lw’agenda okukola nalwo mu kisanja eky’emyaka ebiri. Yalonze Grace Mbabazi (NBS) ku bumyuka bwa pulezidenti, Shafiq Sennoga owa Vision Group ku bumyuka bwa ssaabawandiisi, Fransisco Bwambale owa BBS ku bw’omuwanika ate nga Dorothy Nekesa okuva mu muzannyo gwa rugby y’amyuka omutesiteesi.
Lubega n'abamu ku bammemba ku lukiiko olufuzi.
Lubega era alangiridde bammemba ku bukiiko omusanvu mu USPA ne bassentebe baabwo.
Amina Babirye owa FUFA Media ye ssentebe w’akakiiko k’abakyala, Deborah Nanyonjo ali ku kakiiko ka mpisa, Martin Mugabi ka byanjigiriza, Ismail Mulangwa owa Vision Group ku bifaananyi, Johnson Were owa Vision Group ku k’ebyemikutu mugattabantu, Stephen Ouma ow’akatabo ka The Eye ku k’obwammemba ne Edie Khan Ssemugenyi, mmemba ow’enkalakkalira ku kakiiko anoonya abavujjirizi.
Abalondeddwa bonna baakakasiddwa era Lubega n’ategeeza bammemba nti batandise okutema empenda z’okutikkira bannabyamizannyo abasinze mu 2022 ku kijjulo kya USPA Gala.