Omupiira (Balenzi)
Musingu (KE) 2-1 Amus College
St. Joseph Kitale (KE) 0-0 Bukedea
Highway SS (KE) 1-0 Buddo
APE Rugunga (RWA) 0-3 Kitende (w/o)
Mu Bawala
St. Noa Girls 1-0 Nasokol Girls (KE)
Kawempe Muslim 2-0 Alliance SS (TZ)
Boni Concilli Voc 2-1 Butere Girls (KE)
Amus College 1-0 kobala SS (KE)
Mu kubaka
Hamdan Islamic 43-42 Oyugi Ogango (KE)
St. Noa Girls SS 56-33 Bukokhole (KE)
St. Mary’s Kitende 90-13 Bugogwa SS (TZ)
Buddo SS 62-28 Kaya Tiwi (KE)
Ensero (Balenzi)
St. Cyprian Kyabakadde 58-47 Laiser Hill (KE)
Dagoretti High school (KE) 65-63 Seeta High
Kibuli SS 50-73 Laiser Hill (KE)
Bannantameggwa be mpaka z'omupiira ogwebigere ogwamassomero ga secondary aba Amus college bawanduse mu mpaka zomwaka guno oluvannyuma lw'okulemererwa okuva mu kibinja.
Amus college yakubiddwa abategesi aba Musingu goolo 2-1 mu mupiira gweyabadde yetaaga okuwangula okusobola okutangaaza emikisa egyokuva mu kibinja Kyabwe.
Amus esigazaayo omupiira gumu gwezannya olwaleero nga nebweguwangula tekyasobola kuva mu kibinja.

Abazannyi nga battunka e Kenya
Mu kibinja kyekimu Buddo SS yakubiddwa Highway eya Kenya goolo 1-0 nayo netubira nga yasigadde mu kifo kyakusatu ku bubonero 11 oluvannyuma lwokumalayo enzannya zaayo omukaaga.
Mu kibinja ekyokubiri Kitende nayo yavuddemu nga emalidde mu kifo kyakusatu oluvannyuma lwokukunganya obubonero 12 mu mipiira mukaaga. Kitende yabadde yaakusamba APE Rugunga mu mupiira ogusembayo wabula teyalabiseeko nebagiwa obubonero busatu ne goolo ssatu yadde nga tebyagiyambye kuva mu kibinja.
Bukedea eri mu kyakubiri nobubonero 11 nga yeetaaga kuwangula mupiira gwayo gwezannya ne Benjamin Mkapa eya Tanzania okusobola okuyitamu.
Mu bawala Uganda yayisizzamu tiimu ssatu okuli Amus college, St. Noa Girls ne Kawempe Muslim okugenda ku luzannya oluddirira olwakamalirizo.
Mu mupiira egyagaddewo ebibinja Kawempe yakubye Alliance eya Tanzania 2-0, St. Noa nekuba Nasokol ate Amus neyekubira kobala Girls 1-0. Wabula obuwanguzi bwa Boni concilli nga ekuba Butere Girls eya Kenya bwebayambye Amus college okuyitamu nga eyokubiri mu kibinja ekyokubiri.

Bannayuganda nga basanyukira ggoolo e Kenya
Mu luzannya oluddirira olwakamalirizo Kawempe Muslim ezannya Arch Bishop Njenga eya Kenya ate Amus college ekwata St.Noa Girls.
Mu kubaka bannantameggwa bomwaka oguwedde aba Kitende baatimpudde Bugogwa SS eya Tanzania 90-13 nebeesogga oluzannya oluddirira olwakamalirizo nga tebakubiddwamu.
tiimu za Uganda zigenda kwekwata ku luzannya oluddirira olwakamalirizo nga Hamdan Islamic ezannya Buddo SS ate Kitende ezannya St. Noa Girls.
Kitende yekyasinze okuwangula empaka zokubaka emirundi emingi nga bukyanga mpaka zitandika yakalemererwa okukiwangula enfunda bbiri zokka mu 2002 ne 2018