Aba Liverpool 'bakaabira' Trent Arnold

Liverpool erina emipiira emizibu mu kiseera kino nga yeetaaga buli muzannyi waayo okubeerawo.

Arnold ng'akasuka omupiira ku gwa Burnley.
NewVision Reporter
@NewVision
#Liverpool #Alexander Trent Arnold #Klopp #Premier #Burnley #Mo Salah

Omutendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp asattira lwa buvune bwa ssita we Alexander Trent Arnold.

Omuzannyi ono yazannyeeko eddakiika 45 bwe baabadde bawangula Burnley ggoolo 3-1. Kigambibwa nti evviivi eryamusubya emipiira esatu gye buvuddeko, lye yazzeemu ne lirwala.

Klopp yategeezezza nti bagenda kwekebejja omuzannyi ono okulaba ebbanga ly’anaamala ku ndiri. Liverpool erina emipiira emizibu mu kiseera kino nga yeetaaga buli muzannyi waayo okubeerawo.

Bakulembedde Premier, bali ku fayinolo ya Carabao Cup nga baakuttunka ne Chelsea sso nga mu FA Cup ne Europa League bakyavuganya.

Ng’oggyeeko obuvune bwa Arnold, Mohamed Salah, Alisson Becker n’abazannyi abalala bakyali balwadde.

Login to begin your journey to our premium content