Alonso alabudde Arnold

TRENT Alexander-Arnold yatandise omupiira gw liigi ogusooka mu Real Madrid kyokka omutindo gwe tegwamatizza. Omuzibizi ono eyavudde mu Liverpool sizoni ewedde, yaggyiddwa mu kisaawe mu ddakiika y'e 68 okuyingiza Daniel Carvajal.

Alonso alabudde Arnold
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

TRENT Alexander-Arnold yatandise omupiira gw liigi ogusooka mu Real Madrid kyokka omutindo gwe tegwamatizza. Omuzibizi ono eyavudde mu Liverpool sizoni ewedde, yaggyiddwa mu kisaawe mu ddakiika y'e 68 okuyingiza Daniel Carvajal.

Real yawangudde Osasuna (1-0). Kylian Mbappe ye yasaze Real ku kaguwa bwe yagiteebedde mu ddakiika ya 51 nga yabadde ya peneti.

Oluvannyuma omutendesi wa ttiimu eno, Xabi Alonso yawolerezza Arnold ne banne nti baazanye bulungi kuba gwe gwabadde omupiira ogusooka ng'ate ttiimu ya puleesa.

Wabula yalabudde Arnold nti talowooza nti alina ennamba etandika ey'enkalakkalira kuba Carvajal bwe bagivuganyaako yatandise okulinnyisa omutindo.