Ebyemizannyo

Aba Gayaza Junior beebugira mpaka za Scrabble

ABAYIZI ba Gayaza Junior School beesomye okulaga ab’amasomero amalala obwongo obwesera nga beefuga emidaali n’ebikopo mu mpaka za Future Stars (SAU) National Schools Scrabble championship ezisookedde ddala mu ggwanga.

Aba Future Stars sports program ne Gayaza Junior batongoza empaka za Scrabble
By: Gerald Kikulwe, Journalist @New Vision

ABAYIZI ba Gayaza Junior School beesomye okulaga ab’amasomero amalala obwongo obwesera nga beefuga emidaali n’ebikopo mu mpaka za Future Stars (SAU) National Schools Scrabble championship ezisookedde ddala mu ggwanga.

Aba Future Stars sports program ne Gayaza Junior nga batongoza empaka za scrabble

Aba Future Stars sports program ne Gayaza Junior nga batongoza empaka za scrabble

Zitegekeddwa aba Future Stars sports program, abeegulidde erinnya mu kuzuula n’okuzimba ebitone mu ggwanga nga zaakuzannyibwa ku Lwomukaaga luno ku ssomero lya Gayaza Junior mu disitulikiti y’e Wakiso.

Bwe zaabadde zitongozebwa ku Mmande; Elizabeth Nakimuli 11, omu ku bassita mu muzannyo guno ku Gayaza Junior agamba nti okusinziira ku mpaka ez’enjawulo ze bazze beetabamu, balaba nga tewali ssomero lisobola kubawangula.

Aba Future Stars sports program ne Gayaza Junior nga batongoza empaka za Scrabble

Aba Future Stars sports program ne Gayaza Junior nga batongoza empaka za Scrabble

“Twakamala okufutiza amasomero ga Uganda mu za 2026 Inter-Schools Scrabble championship ku ssomero lya Wampeewo Ntake SS era nze nali omuzannyi w’empaka, omutindo guno kati gwekubisizzaamu era amasomero agenda okwetaba mu za Future Stars zeesibe bbiri,” Nakimuli bwe yaweze.

Amasomero ga pulayimale 10 n’aga ssiniya 10 ge gasuubirwa okwetaba mu za Future Stars (SAU) National Schools Scrabble championship ez’omwaka guno.

Mu ngeri y’emu empaka zino zaakweyambisibwa okusunsula ttiimu eneekiikirira Uganda mu mpaka z’ensi yonna eza World Youth Scrabble Championship ez’okuzannyibwa wakati wa August 7-9, 2026 mu kibuga Nairobi ekya Kenya

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: