EMIPIIRA gy’Amasaza gitandikiddewo okwokya abatendesi, ttiimu zaabwe bwe zivumbedde abawagizi ne bakissa ku bo nti be babulamu obukodyo obuzisitula. Mu nsiike z'oku wiikendi, abamu ku batendesi ab'amannya baakubiddwa ku butaka sso nga waliwo n'abasitudde ttiimu ezirudde nga nnambalujega;
BUSIRO 0-0 GOMBA
Gwabadde ku kisaawe kya Trinity College e Nabbingo mu Wakiso, nga gwawedde 0-0. Gwe gwabaddeko minisita wa Buganda ow’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Ssaalongo Rober Serwanga. Abawagizi ba Gomba baawaanyisiganyizza ebigambo n’omutendesi wa Busiro, Simon ‘Dunga’ Ddungu bwe baamulangidde nti, "Tolina waaka kye twava tukugoba ne ku ttiimu yaffe." Bino byaggyeeko Ddungu waya n'abaddiza omuliro nti, "Okuva bwe mwangoba mwali muwangudde ki? Ku bikopo 5 bye mulina,
ekimu kyange." Dunga (ku ddyo), eyatendeka Gomba okutwala ekikopo mu 2017, omwaka oguwedde yamuzzaayo wabula n'emugoba nga sizoni tennaggwaako.
BUTAMBALA 1-0 MAWOGOLA
Enduulu ey'oluleekereeke yasaanikidde ekisaawe kya Kibibi SS, ttiimu ya Butambala ebadde emanyiddwa mu nnambalujega bwe yakubye Mawogola (1-0). Omwaka oguwedde, Butambala yawangula omupiira gumu gwokka (yakuba Mawogola 5-3) ate nga gwe gwali gusemba mu kibinja era ye yakoobera. Abawagizi ba Mawogola abasaamusaamu baatolotoomye nti, "Omutendesi mufu. Okusinziira ku kwetegeka ttiimu yaffe kw'ebaddemu n'emipiira egy’omukwano emingi gye tuzannye, Butambala si ye anditukinyeeko."
MAWOKOTA 0-1 KYAGGWE:
Omutendesi Richard Malinga, eyatuusizza Amus College ku bwakyampiyoni bw'eggwanga, byamusoberedde e Buwama, Mawokota eyamuzzizza ku mulimubwe yakubiddwa Kyaggwe (1-0). Ekyalumye Bannamowokota, ye Kyaggwe okuba g'etendekebwa Ronald Ssali, ali ne mu Bukedea Comprehensive, Amus lye yakubira ku fayinolo y'amasomero. Emirala; Bugerere 1 Kkooki 1; Buddu 2 Buluuli 1; Ssingo 2 Kabula 1; Busujju 1 Buvuma 0 ne Ssese 1 Bulemeezi 1