Aba FMU batongozza ekifo awanaavugirwa emmotoka ez'okwegezaamu

Empaka za Pearl of Africa Rally zaakubaawo mu ggwanga omwezi ogujja wakati wa May 06 ne 08 .

Dipu ng'ateeka omukono ku ndagaano..jpg
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#FMU #batongozza

Bya Olivia Nakate

Empaka za Pearl of Africa Rally zaakubaawo mu ggwanga omwezi ogujja wakati wa May 06 ne 08 .

Empaka zino zaakutandika n akwegezaamu kw’abavuzi okutuumiddwa ‘Shake Down’ ng’ ennaku z’omwezi 06 okusobozesa abategesi okusengekebwa mu bifo bye bagenda okusimbulwamu.

Ng’emu ku nteekateeka y’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa ddigi wamu n’emmotoka z'empaka ekya FMU okutegeka empaka eziri ku ddaala lya Africa, bano  batongoza ekifo abavuzi mwe bagenda okugeseza ebyuma  ekya Mzuri Africa ekisangibwa e Namataba mu disitulikiti y’e Mukono.

Okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, bano batadde omukono ku ndagaano ng’omukolo gukoleddwa  pulezidenti wa FMU Dipu Ruparelia n’eyaliko minisita w’amazzi Ronald Kibuule nga ye nnannyini Mzuri Africa.

Ku olwo abavuzi 32 nga kuliko abagwira 10 baakuvuga omugatte gwa kiromita  mukaaga mu mwetoloolo nga empaka ez’okukulungula ennaku essatu.

Empaka za Pearl of Africa Rally zaakusatu ku kalenda ya Africa, eya Africa Rally Championships ng’ era zaakusatu ku kalenda y’eggwanga eya National Rally Championship NRC.

Empaka zino zaali zaasemba okutegekebwa wano mu 2019 nga Munnakenya Manvir Baryan ye yaziwangula.