Don Wanyama akulira Vision Group (ku ddyo) ne Micheal Ssebbowa akulira Bukedde nga batambula. Ebif. bya Mpalanyi Ssentongo.
Ssebanenya Emmanuel
Journalist @New Vision

Bya Emmanuel Ssebanenya

Abakozi ba kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde, balamaze e Namugongo nga bwe baalondebwa okukiikirira emikutu gy’amawulire mu Uganda.

Vision Namugongo

Vision Namugongo

(Don Wanyama n'abakozi abalala nga batambula).

Basimbudde ku kitebe kya Vision Group mu Kampala mu ttuntu olwaleero nga bakulembeddwa akulira kkampuni,Don Wanyama n’omumyuka we era Ssabakristu wa Uganda, Gervase Ndyanabo.

Babadde ne Ssabakristu wa Vision Group Michael Ssebbowa era Omukung’aanya wa Bukedde n’abakozi ba kkampuni abalala ne boolekera Namugongo ku kiggwa ky’Abajulizi.

David Osiya n'abakozi ba Vision Group abalala.

David Osiya n'abakozi ba Vision Group abalala.

Wategekeddwaayo mmisa nga bajjukira Omuwolereza w’abamawulire Omutuukirivu Achilles Kiwanuka. Abeetabye mu kulamaga olwaleero mulimu abawandiisi b’amawulire, abakola mu kyapa gye bakubira amawulire, bakitunzi, abakola ku by’ensimbi n’abalala nga mmisa eri ku Basirika (Uganda Martyrs Shrine Namugongo). Mmisa etandika ssaawa 11:00 ez’akawungeezi.

Gervase Ndyanabo (wakati) n'abakozi abalala nga batambula.

Gervase Ndyanabo (wakati) n'abakozi abalala nga batambula.

Ekiseera kyekimu, abalamazi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’ebweru abagenda okwetaba ku lunaku lw’Abajulizi olwa June 3, 2022 ku Lwokutaano bakyeyiwa e Namugongo era waliwo abakwataganye n’aba Vision Group nga babasanze mu bitundu by’e Banda. (Ebif. bya Mpalanyi Ssentongo)

 

ADVERTISEMENT

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});