Aba Vision Group balamaze e Namugongo okujjukira omuwolereza w'abamawulire
Bya Emmanuel SsebanenyaAbakozi ba kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde, balamaze e Namugongo nga bwe baalondebwa okukiikirira emikutu gy’amawulire mu Uganda.Basimbudde ku kitebe kya Vision Group mu Kampala mu ttuntu olwaleero nga bakulembeddwa akulira kkampuni,Don Wanyama n’omumyuka we era Ssabakristu wa Uganda, Gervase Ndyanabo.
Don Wanyama akulira Vision Group (ku ddyo) ne Micheal Ssebbowa akulira Bukedde nga batambula. Ebif. bya Mpalanyi Ssentongo.