OMUTAKA owaakasolya, Deus Kyeyune akulira kika kya hhaali, mukugu mu kubuulirira abafumbo era alina n’ebitabo eby’enjawulo by’awandiise ebibuulirira
abafumbo, annyonnyola bw’ati ku nsonga y’okulwanyisa okuttihhana mu maka:
l Wasa mukwano gwo nga mwetegeera kuba ne bw’onoomunyiiza ajja kukusonyiwa mangu.
l Funa omuntu bwemufaanaganya enzikiriza muleme okutabukatabuka olw’enjawukana mu ddiini.
Okugeza omukyala bw’oba omulokole ate ng’omwami Musiraamu, bw’onookyaza
omwami ayinza okubalowooleza ebirala, naye bw’aba mulokole muba mujja kwetegeera.
l Yiga ebinyiiza munno n’ebimusanyusa n’ebyo by’ayagala, obeere nga weegendereza obutakola nsobi eyinza okuvaako okwetta.
l Weewale ebint ebiyinza okuleeta okutAabuka mu maka, kuba buli omu abimanyi.
l Tolaba kintu n’osirika, kino kikulu mu maka, ekikunyiiza kyogere munno akimanye.
l Bwe munyigahhana, mwewale okwefundikira oba okwekuba emigongo.
Ekitanda mukifuule omutabaganya wammwe wadde muba munyiize.
Ky’ova olaba abakubagana emisana ate bukya baseka.
l Muyige okuwuliziganya, kijja kuleeta emirembe mu maka gammwe. Bwe wabaawo ebibasobyeko omwagalwawo munnyonnyole ng’akkakkanye obusungu.
l Okusonyiwagana kikulu, mwewale okukuuma ekiruyi ku mutima.
l Kibi okufumbirwa oba okuwasa omuntu nga toyagala bantu be. Yagala abantu b’omwagalwawo era tobanyooma, bawe ekitiibwa nga bazze gy’oli era ne bwe wabeerawo ensonga babeera basobola okubakkakkanya. l Bw’ofumbirwa omusajja alina abaana manya nti, abaana tebalina musango baagale. l Yiga okufuga obusungu, omwagalwa wo] bw’akunyiiza muviire oba ofune by’okola ebirala, bw’okkakkana okomewo