Waliwo abaagala Rebecca Kadaga bamutonderewo ekifo ky'obumyuka bwa ssentebe wa NRM e Busoga

WALIWO bassentebe ba NRM ku zi disitulikiti abasabye abakulira ekibiina kyabwe okutondawo ekifo ky’omumyuka wa ssentebe waabwe mu Busoga kisobozese akalulu k’ebifo ebinene mu kibiina okutambula obulungi.

Waliwo abaagala Rebecca Kadaga bamutonderewo ekifo ky'obumyuka bwa ssentebe wa NRM e Busoga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#NRM #Among #Busoga #Kifo #Kadaga

WALIWO bassentebe ba NRM ku zi disitulikiti abasabye abakulira ekibiina kyabwe okutondawo ekifo ky’omumyuka wa ssentebe waabwe mu Busoga kisobozese akalulu k’ebifo ebinene mu kibiina okutambula obulungi.

Sipiika Wa Palamenti Anita Among Nga Ayogera 444

Sipiika Wa Palamenti Anita Among Nga Ayogera 444

Bano nga bakulembeddwamu ssentebe wa NRM omulonde owa Bugiri, Solomon Silwanyi akawungeezi k'eggulo basembye Sipiika wa palamenti, Anita Among ku ky’omumyuka wa ssentebe w’ekibiina omukyala mu ggwanga lyonna ne bategeeza nti waliwo entalo ezitandise okubalukawo mu balonzi ezEetaaga okunogera eddagala nga bukyali.

Hajji Abubaker Walubye Owa Iganga Ng'ayogera.

Hajji Abubaker Walubye Owa Iganga Ng'ayogera.

Ssentebe wa NRM owa Iganga, Hajji Abubaker Walubye agambye nti omuntu aliko mukadde kano takyali sipiika ate nga ekibiina kyetaaga omuntu atwala essiga eribaga amateeka okubeera ku mwanjo abayambeko mu bizibu ebibaluma.

Ssentebe wa NRM e Gomba, Juma Witonze agambye nti bakooye abantu abeeyita bamulungi omu nga bavuddeko ekibiina kyabwe okukyayibwa mu bitundu bya Buganda ne Busoga.

Wabula, sipiika Among eky’okutondawo ekifo ky’omumyuka mu Busoga takisembye wabula nga kuno kusalawo kw’abatwala akakiiko akafuzi okukola okusalawo kwabwe.

Ono era akomye ku bantu abasusse okumusojja mbu ayingirira ali mu kifo kino ky’ayagala, n’agamba nti ono maama we, wabula n’ategeeza nti n’azina obulungi atuuka n’ava mu ddiiro nga ke kadde naye abeere mu kifo kino.