Amawulire

Vision Group esse omukago ne Uganda Martyrs Nkozi mu kutegeka ebikujjuko by'abajulizi Abakristaayo

KKAMPUNI ya Vision Group yeeyamye okukolegaana n’ettendekero lya Uganda Martyr’s University (UCU) munteekateeka z’ebikujjuko by’olunaku lw’Abajulizi abakristaayo  

Abakungu ba Vision Grp nga bali n'abakungu okuva ku Matyrs University Nkozi
By: Nsimbi Ponsiano, Journalists @New Vision
KKAMPUNI ya Vision Group yeeyamye okukolegaana n’ettendekero lya Uganda Martyr’s University (UCU) munteekateeka z’ebikujjuko by’olunaku lw’Abajulizi abakristaayo.
 
Bino bituukiddwa munsinsinkano wakati w’abaddukanya Yunivasite ya UCU abakulembeddwa Pol.John Kitayimbwa,Pol.Monica Chibita,Harriet Adong Ekalla Atuyambe avunaanyizibwa kubya mawulire ne Christa Oluka avunaanyizibwa ku by’omutindo n’enzirukanya y’emirimu n’akulira kkampani ya Vision Group Don Wanyama
 
Omwaka oguwedde Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Stephen Kazimba Mugalu yalangira ng’ebikujjuko by’omwaka guno bwe bigenda okulemberwamu yunivasite ya UCU. 
 
Pol.Kitayimbwa ategezeza nti Vision Group kkampani eyesigika erina obukugu n’obumanyirivu obw’enjawulo ate ng’etuuka mu buli kasonda ka ggwanga. 
 
Agambye nti tekigenda kukoma ku nkolegaana y’abyamawulire gakwata kunteekateeka zino wabula baleese bizinensi ez’enjawulo eri Vision Group okuli ey’okukulira ebirango byonna,okukuba ebiwandiiko n’ekitabo eky’ekijjukizo ekinabeeramu enteekateeka y’emikolo.
 
Ayongeddeko nti olw’okuba enteekateeka zigenda kulemberwamu bavubuka bagala okulaba nga benyigiramu buterevu mu byonna ebigenda okukolebwa naye  ng’essira lyakuteekebwa ku kya kusabira mirembe nakutabagana.
 
Ebikujjuko by’omwaka guno bya kutambulira ku mulamwa ogugamba nti’’ Yesu mirimbe gyaffe;myenya ebisenge ,owonye amawanga’’ 
Wanyama agambye nti guno sigwemulundi ogusoose okukolegaana n’abateesiteesi b’ebikujjuko bino ng’emyaka essatu egiyise baze bateegeka empaka z’enyimba z’Abajulizi ezize zongera ebbugumu mu bikujjuko bino n’okumanyisa abantu ebikwata ku bajulizi ezeetabwamu kwaya okuva mu bitundu bye ggwanga eby’enjawulo.
 
Ayanirizza  okusaba kw’ab UCU nategeza nga bwe bagenda okwongera okutuula okwongera okwekenenya engeri gye bagenda okutambuzamu enteekateeka zino era nalonda akulira Pulojeekiti ez’enjawulo mu Vision Group Sidney Miria okukulira olukiiko olugenda okutambuza ensonga eno ng’ayambibwako akulira ba kitunzi ba Vision Group Lorraine Tukahirwa, Max Adii akulira one Luo Tv n’abalala.
WANYAMA AKUNZI ABA UCU OKWETABA MU KIVVULU KYA BAKAMOKA
Wanyama era asinzidde wano nakunga aba UCU okubegattako ku Lwokutaano mu kisaawe e Kololo nga bajuguza emyaka 40 bukya kkampuni ya Vision Group etandikibwawo.
 
Pol.Monica Chibita agambye nti ekibaleese okwegatta ku Vision Group kukulaba nga baggulawo enkolegaana, okunyumisa omukolo gw’olunaku lw’Abajulizi n’okumanyisa abantu ebigenda mu maaso kyokka nga bakulembeze ensonga y’okusabira emirembe mu ggwanga.
 
Maneja wa Bukedde Fm embuutikizi Ronald Sebutiko agambye nti UCU egidde mu kiseera ekituufu nga Vision Group ejjaguza olugendo lwayo olw’emyaka 40, nalaga obukulu bw’okulembeze emirembe n’abavubuka mu bikujjuko bino.
Asuubiza nga bwe bagenda okukozesa emikutu gyabwe gyonna okutuusa amawulire agakwata ku nteekateeka zino ku bantu bonna  n’okubunyisa enjiri ey’emirembe.
Tags: