Amawulire

Poliisi e Mbale eri mu kubuuliriza ku ngeri omuyizi w'ekibiina ekyokusatu gy'attiddwa

Poliisi e Mbale eri mu kubuuliriza ku ngeri omuyizi w'ekibiina ekyokusatu gy'attiddwa 

Poliisi e Mbale eri mu kubuuliriza ku ngeri omuyizi w'ekibiina ekyokusatu gy'attiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Mbale eri mu kubuuliriza ku ngeri omuyizi w'ekibiina ekyokusatu gy'attiddwa 

Omwana ono Alex Wakoko 13 ng'abadde abeera ne bazadde be ku kyalo Busambe mu Ggombolola y'e Bumbobi e Mbale, y'asangiddwa emanju w'ennyumba nga bamutuze.

Abadde muyizi mu 
Ssomero lya Naiku p/S mu kitundu ky'ekimu era ng'okuttibwa, asoose kufuna butakaanya ne mwannyina ensonga n'aziroopera nnyina Betty Nandutu. 

Nnyina , agamba nti abalese awaka n'abaako by'agenda okugula ku dduuka nti eyo omugenzi Wakoko  gy'amusanze okumuloopera mwannyina okumuvuma, nti era nnyina, n'amuwooyawooya ng'amugulira ekindaazi n'amulagira addeyo awaka.

Agasseeko nti ate kimubuseeko okumuyita n'asanga ng'omwana atugiddwa emanju w'ennyumba. 

Ensonga bazitegeezezza ssentebe w'e Ggombola y'e Bumbobi naye n'atemya ku poliisi eggyewo omulambo ng'okubuuliriza kukolebwa okusinziira ku Rogers Taitika omwogezi wa poliisi e Mbale

Tags: