EGGYE lye UPDF lyebazizza Katonda olw’obuwanguzi bwe lizze lituukako bukya litandikibwawo nga February 6, 1981 lwe baalumba enkambi y’amagye eya Kabamba.
Omukolo gw’okwebaza Katonda gubadde ku kitebe kya UPDF e Mbuya ng’okusaba kukulembeddwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda eyawummula Henry Luke Orombi.
Omumyuka w’omuduumizi wa UPDF Lt Gen. Sam Okiding, ayozaayozezza Pulezidenti abadde ne mukyalawe Maama Janet Museveni olwokutuuka ku buwanguzi mu kulonda okwaliwo nga January 15, 2026 kwe yawangula n’ebitundu 71 ku 100 n’agamba nti kabonero akalaga nti Bannayuganda basiima byakoledde eggwanga.
Museveni ategeezezza nti obuwanguzi UPDF bwezze etuukako okuviira ddala mu lutalo olwaleeta Gavuamenti ya NRM mu buyinza mu 1986 baaliko Katonda eyabayisa mu mbeera enzibu.
Pulezidenti asuubizza ng’ekisanja kino essira bwagenda okuliteeka ku nsonga zonna ezinyiga abantu ng’okulwanyisa obwavu, enguudo embi, obuli bw’enguzi, ebbula ly’eddagala malwaliro n’ebisale by’amasomero ebisusse.

Pulezidenti Museveni ng'atuuka e Mbuya
Ssaabalabirizi Orombi asabye Pulezidenti ateekewo ekkadiyizo omuli ebyafaayo (Museum) abantu b’omulembe guno we basobola okuyigira ebyafaayo by’eggwanga kuba abavubuka tebamanyi nti waaliwo ebbula ly’ebintu kwogatta n’okutta abantu okwali kususse.
Omukolo gwetabyeko abakulira ebitongole bya UPDF ebyenjawulo, Gen. Kale Kayihura, Lt. Gen. Henry Tumukunde, Brig. Emmanuel Rwashande, minisita w’ebyokweinda Jacob Oboth n’abalala.
Pasita Wilson Bugembe y’asanyusizza bamukwata mmundu abazinye nga bwabayimbira ennyimba ezitendereza Omutonzi.