URA yeekokodde abakumpanya omusolo: "Tufiirwa buwumbi na buwumbi''

Okwongera enkolagana n'amawanga ag'ebweru mu by'obusubuuzi, Minisitule y'ebyensimbi ng'eri wamu ne URA batandise kaweefube w'okulaba nga banunula omusolo oguli mu buwumbi ogufiirwa mu busubuuzi obutali mu mateeeka.

John Musinguzi akulira URA ng'ayogera
NewVision Reporter
@NewVision

Okwongera enkolagana n'amawanga ag'ebweru mu by'obusubuuzi, Minisitule y'ebyensimbi ng'eri wamu ne URA batandise kaweefube w'okulaba nga banunula omusolo oguli mu buwumbi ogufiirwa mu busubuuzi obutali mu mateeeka.

Bino bibadde mu lukung'aana olutudde ku Sheraton Hotel mu Kampala.

Moses Kaggwa, kaminsona mu Minisitule y'ebyensimbi agambye nti Uganda yafiirwa omusolo ogukunukiriza mu kasse kamu mu biseera eby'omu ngalo ekintu ekyatataaganya eby'enfuna by'eggwanga.

Okusobola okununula eby'enfuna gavumenti eze ekola butaweera okulaba nga basitula eby'obusubuuzi kiyambeko okwongera ku bungi bw'omusolo ogukung'aanyizibwa.

Mu kino Minisitule y'ebyensimbi ng'eri wamu n'ekitongole ekivunaanyizibwa okusolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) nga beegatiddwaako abakungu okuva mu mawanga amalala n'ekigendererwa eky'okulaba nga Uganda egattibwa ku mawanga amalala agasoba mu 100 okulaba nga bagabana aamwulire agakwata ku bizinensi ez'enjawulo.

Kaggwa ng'ono y'abadde omugenyi omukulu ategeezezza nga Uganda bw'efiirwa ensimbi naddala mu bayinvesita abawa amawulire amafu ku ngeri gye batambuzaamu bizinensi zaabwe.

Kaggwa wano waasinzide n'asaba okusinga bbanka okukologana nabo okulaba nga bawa aamwulire amatufu eri URA engeri ssente z'abantu gyezitambulamu ku account ez'enjawulo.

Akulira URA John Rujoki Musinguzi mu kwogerakwe alaze nga omusolo oguli mu buwumbi gwe bafiirwa mu bantu abeenyigira mu busubuuzi obukyamu.

Ayongerako nti singa bawebwa omukisa okweyunga ku mawanga gano, omusolo gwandyeyongera nga bayita mu kugabana entambula y'emirimu eri bizinensi ez'enjawulo kibayambeko okumanya ani asasude n'ebirala

Login to begin your journey to our premium content