Aba Takisi bawandiikidde sipiika abataase ku bakebera emmotoka zaabwe ku buwaze

ABAKULIRA takisi mu ggwanga  wansi wa UTOF basisinkanye abakulira takisi okuva mu buli disitulikiti ne baabaga ekiwandiiko mwebatadde ensonga ttaano omuli n’okuwakanya okukebera mmotoka zaabwe ku buwaze gavumenti kwesubira okutongoza ssaawa yonna.

Abakulira ebibiina bya Takisi mu ggwanga
NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULIRA takisi mu ggwanga  wansi wa UTOF basisinkanye abakulira takisi okuva mu buli disitulikiti ne baabaga ekiwandiiko mwebatadde ensonga ttaano omuli n’okuwakanya okukebera mmotoka zaabwe ku buwaze gavumenti kwesubira okutongoza ssaawa yonna.

Bano bakulembeddwamu ssentebe wa UTOF Rashid Ssekindi n’omumyuka we Musitah Mayambala nga bayambibwako n’abakungu okuva mu kibiina ekigatta abakozi  ekya “Amalgamated Transport And General Workers Union” [ATGWU] mwe begattira.

Omukulembeze wa Takisi Is Sekindi ne Mayambala

Omukulembeze wa Takisi Is Sekindi ne Mayambala

            Ba ddereeva bagamba nti enkola ya gavumenti empya gyereeta ey’okukebeera nga mmotoka zonna ku buwaze eteberezebwa okutandika mu July/2025  eyitiibwa “[Mandatory Periodical Vehicle Inspection” egira nayo eyimirira

Gye buvuddeko palamenti yayimiriza kkampuni SGS eyali eweereddwa omulimu gw’okwekebejja ebiduuka ku buwaze. Oluvannyuma gavumenti ne mala n’egula ebyuma bya SGS byonna n’ebifo omusanvu bye yali ezimbye mu bitundu ebyenjawulo okuli Nammanve-Mukono, Kawanda -Matugga, Namulanda -Entebbe Road , e  Mbale, ne Mbarara,

            Mu nkola enkadde kkampuni ya SGS  yali egenda kusasuza Pikipiki omuli  ne Bodaboda 56,000/- kati mu nkola ya gavumenti empya zaakusasula 5,500/- Takisi ezaali ku 110,000/-ne zidda ku 49,500/-ne mmotoka za buyonjo zaakusasula ssente zezimu.zo bbaasi, loole ne lukululana byakusasula 60,000/- zokka.

            “Enkola eno teyandibadde mbi naye njagala gavumenti ekimanye nti wadde baagala okusolooza omusolo okuyimirizawo eggwanga lyaffe naye enguudo zonna mu Kampala n’emiriraano mbi nnyo” Ba ddereeva bwe bategezezza.

Abakulembeze ba Takisi

Abakulembeze ba Takisi

 Ate  mmotoka zetwali tusobola okugula nga tuzijja ebweru w’e ggwanga ku miwendo emisamusamu eziri wansi w’e myaka 15,  emabega bazigaana kyokka ng’ate ez’emyaka emipya tetusobola zigula ziri ku buseere nnyo era ne  mmotoka ze balina buli mmotoka 80 ku 100 tezisobola kuyita mu kasengejja kano.

            Aba takisi era baagala buli tteeka oba enkola empya egenda okuleetebwa okutandiika okukola mu ggwanga ng’ekwata ku mulimu gwabwe basooke nga nabo babeebuzeeko kubanga balina ebirowoozo bingi bye basobola okugattako.

            Basaba aba kkampuni erina mmotoka ze bayita “Fly Express” ekoleera ku luguudo lwe Ntebbe baziwalirize zitandiika okukoleera mu ppaaka nayo evve ku ma kuubo kubanga bwe kigaana nabo bajja  kuza takisi zaabwe ku kuubo n’ebirala

Login to begin your journey to our premium content