Eyaliko omwogezi w'ekitongole kya bambega e Kibuli omupoliisi D/ASP Charles Twine Mansio 48 Noah Mitala amanyiddwa nga Noah Mutwe 32
basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Ronald Kayizzi n'abasomera emisango 8 okuli egyokusiga obukyayi wamu n'okukuma omuliro mu bantu nga bakozesa emitimbagano
Twine omutuuze w'eBukemba Cell Majije Kasangati mu disitulikiti ye Wakiso nga munyankore akola ku poliisi ya palimenti ne Mitala omutuuze w'eKavule Ssemutto Matugga mu disitulikiti ye Wakiso nga mukinjaje bebaavunaniddwa emisango 8 era gyonna ne bajegaana.
Okusinziira ku mpaaba ya kkooti kigambibwa nti bano nga bakozesa enyuma bi kalimagezi baakuma omuliro mu bantu nga bawereza obubaka bwokulumba wamu n'okutta omukulembeze we ggwanga nga bakozesa ppeeva.
Omusango omulala ekiraga nti Atwine yawerezza Noah Mutwe obubaka nga amulagira okutta omudumizzi w'eggye ly'eggwanga General Muhoozi Kaneirugaba.
Atwine era yahuddwako emisango emirala 6 nga kigambibwa nti yasaasanya obubaka obusiga obukyayi nga ayogera ebigambo ebireeta obukyayi mu bantu eri sipiika wa Palamenti Anittah Annet Amongi nga Atwine agamba nti Anittah muntu muvundu era yavujjirira okutta abantu mu disitulikiti ye Bukedia.kuno nga yagattako okuvuma wamu n'okutyobola omuduumizi we ggye lya Updf Gen Muhoozi Kainerugaba, omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa, ne General James Birungi.
Omusango ogwo 8 ogwabaguddwako gwa kugezaako okwekokobaana okuzza emisango ekikontana namateeka ga Uganda.
Bino byonna nga byatuukawo wakati wa January wa 2024 ne May wa 2025 mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo nga bakozesa omutimbagano n'ebyuuma kalimagezi.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka wamu NE Ivan Kyazze bategeezezza kkooti nga okunonyereza ku misango gino bwe kukyagenda mu maaso n'ebasaba kkooti okuboongerayo olunaku okusobola okumanya okunonyereza wekunaaba kutuuse.
Naoh Mutwe mukwogerako eri omulamuzi amutegeezezza nga baabadde teyetegese kusaba kw'eyimirirwa olwensonga nti yawambibwa era nga abadde akuumibwa mu kifo kyatamanyi nga teyasobodde nakugezaako kwogera na bantu be okuggya okumweyimirira.
Wabula ye Atwine yategezezza omulamuzi nti wadde otugaanye okwenyonnyola naye tulina okukola ekisingako okusinga nga bwekiri
Omulamuzi Kayizzi bategezezza nga ebyo waggya okubinyonnyola kkooti ku lutuula oluddako era omusango yagwongeddeyo okutuusa nga June 5 2025.