UNEB eragidde amasomero okutimba enkalala z’aba P7, S4 ne S6

EKITONGOLE kya UNEB kiragidde amasomero gonna agalina olukusa okutuuza ebigezo by’akamalirizo okuli ebya P7, S4 ne S6, okutimba enkalala abaawandiisiddwa okutuula ebigezo eby’akamalirizo, abayizi n’abazadde basobole okuzeekebejja.

UNEB eragidde amasomero okutimba enkalala z’aba P7, S4 ne S6
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITONGOLE kya UNEB kiragidde amasomero gonna agalina olukusa okutuuza ebigezo by’akamalirizo okuli ebya P7, S4 ne S6, okutimba enkalala abaawandiisiddwa okutuula ebigezo eby’akamalirizo, abayizi n’abazadde basobole okuzeekebejja. Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa akulira UNEB Dan Odongo, kino kikoleddwa okusobozesa abazadde n’abayizi okumanya nga bukyali oba ddala baawandiisibwa, kireme kubagwako bugwi ku lunaku lw’ebigezo nga bwe kizze kiba ku masomero ag’enjawulo.
Enteekateeka eno egenda kumala emyezi ebiri okuva nga August 10, 2025, okutuusa nga October 10, 2025, era abakulira amasomero, n’abavunaanyizibwa ku kulambula amasomero mu disitulikiti, munisipaali n’ebibuga UNEB ebalagidde okutimba enkalala zino mu bifo abantu we basobola okujja e bazeekenneenya.
Abazadde abalina abayizi mu masomero agatalina lukusa kutuuza bigezo, yabawadde amagezi okwanguwa bagende ku masomero abayizi baabwe gye baabawandiisiza  okutuulira ebigezo, beetegereze enkalala zino. Omuzadde anaasanga ng’omuyizi we tali ku lukalala ate nga yasasula ez’okwewandiisa, ng’alina n’obukakafu, ensonga eno alina okugitegeerezaawo abakulira essomero bamuyambe, kyokka bwe beekuluntaza, UNEB
etaddewo ennamba z’essimu kw’osobola okuyita okugitegeeza n’ebaako ky’ekola.
Era osobola okumanya oba
omuyizi wo yawandiisibwa,  ng’oyita mu kusindika obubaka ku ssimu. Olina okuba  ng’olina ennamba y’omuyizi wo ey’ebigezo (INDEX NUMBER). Okusindika,  onyiga ekigambo Reg mu ssimu yo, n’obuukawo akabanga, n’ozzaako Index Number, n’osindika ku 6600.
Abazadde n’abayizi era bakubiriziddwa  okwekenneenya ebikwata ku bayizi omuli amannya, amasomo ge bagenda okukola, obufaananyi bwabwe, okulaba nga bikwatagana bulungi. Bwe biba tebikwatagana, essomero lirina obuvunaanyizibwa okutegeeza UNEB mu bwangu, babitereeze. Ku bayizi ba P7, singa basangamu ebitakwatagana, essomero lirina okujjuza ffoomu mu bwangu, gye bawanula ku mukutu gwa UNEB, ne bagiweereza ku UNEB. Ate aba S4 ne S6 bo balina okuwandiika
ebbaluwa esaba okukola ennongoosereza, ne bateekako ne densite y’eggwanga oba satifikeeti y’obuzaale eby’omuyizi ayagala okutereezaamu mu bimukwatako. UNEB etaddewo ennamba abazadde, abayizi n’abakulira amasomero kwe basobola okukuba ne bongera okunnyonnyola enteekateeka eno. Osobola okukuba ku 0800-111 427 etali ya
kusasulira, oba 0760-131-261 oba 0776 865556. Abayizi bazze bafiirwa omwaka ogw’okukoleramu ebigezo, olw’abakulira amasomero okubulankanya ssente zaabwe