OMUKYALA SSUPA; Mu kusoma obusawo mwe yaggya ekirooto ekitandika bizinensi

NG’ATUDDE P7, Rovina Kobusingye kitaawe yamutwala okusoma Obusiisiita wabulaKatonda n’akimulaga nti okuyitibwa kwe kuli mu kujjanjaba balwadde era mu Busiisitan’avaayo.

Kobusingye mu dduuka ly’eddaggala.
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

NG’ATUDDE P7, Rovina Kobusingye kitaawe yamutwala okusoma Obusiisiita wabula
Katonda n’akimulaga nti okuyitibwa kwe kuli mu kujjanjaba balwadde era mu Busiisita
n’avaayo.

Mu kiseera kino, Kobusingye akolera mu labalatole ly’eddwaliro lya KCCA e Bukoto kyokka era ye nnannyini Lovik Pharmaceuticals ne For Life Medical Center e Kisasi. Kobusingye, azaalibwa Atanansi Kaigunda (omugenzi) ne Fulugyensia Korugyendo ow’e Rwamunena mu Sheema.

Yasomera Kirundo P/S era bwe yamala pulayimale, kitaawe yamutwala mu kigo kya Mushanga wansi wa Grails Movement Sisters okusoma Obusiisita. Wabula ye yali ayagala kubeera musawo ng’ajjukira empiso ya kkwiniini kitaawe gye yamukuba ng’alwadde omusajja gw’ensiri eyamuleetera obuzibu.

Kitaawe yalina akalwaliro k’oku kyalo ng’atunda eddagala wadde nga teyalina utendeke bwa busawo.
Eby’embi empiso gye yamukuba yatana n’emuzimbya akabina ne kaabika ng’ali ku ssomero, yunifoomu ye n’ejjula omusaayi. Wano we yafunira ekirooto, ekisoma obusawo asobole okujjanjaba abantu ng’alina obukugu.

Ng’asoma Obusiisita, kojja we yawabula bazadde be okubusoma nga bw’abugasseeko ekintu ekirala era baamuzza ku ssomero ku Kichawamba SS gye yavanga mu luwummula, okugenda okusoma Obusiisita.

Wabula mu S2 ebyenfuna bya kitaawe byacankalana, eza ffiizi ne zibula era ttaamu ezimu yazibuuka olwo n’atuuka mu S4 n’akola ebibuuzo by’akamalirizo n’ayita bulungi naddala amasomo ga ssaayansi.

Kobusingye (wakati) n’abakozi be.

Kobusingye (wakati) n’abakozi be.


Ebibuuzo bya S4 we byakomerawo, kitaawe yali amusindise e Lubaga gy’abeera asomera Obusiisita.
Era eno gye baamuweera amagezi atandike ne satifikeeti mu koosi y’obusawo, agende ng’agigattako mpolampla era yagisoma okumala emyaka 3.

Aba Grails Sisters baali bamusasulirako ekitundu ku ffiizi, endala nga ffamire ye y’ezisasula. Ng’anaatera okumaliriza obusawo mu 2009, yava mu busiisita n’afumbirwa. Yali afunye
n’omulimu ne Integrated Community Based Initiative (ICOBI). Nga batambula ebitundu okuli; Mubende, Luweero, Mityana ne Nakaseke nga bakebera abantu akawuka ka mukenenya ng’ababa bazuuliddwaamu akawuka nga babalagirira mu malwaliro gye baba bagenda okujjanjabibwa. Mu 2014, Kobusingye yafuna omulimu mu ddwaaliro lya KCCA e Komamboga ng’akola nga Laboratory Assistant.

Omwaka ogwaddako, yakozesa ssente z’aterese n’addayo okusoma dipulooma mu Clinical Medicine n’afuluma nga Assistant Medical Officer.
AYINGIRA BIZINENSI
Kobusingye agamba nti yayagala nnyo okussaawo bizinensi ey’ebbali aleme kutunuulira ssente za musaala zokka. Yakozesa ssente obukadde 12ze yali aterese, n’aggulawo ekifo omutundirwa eddagala (pharmacy) e Kyanja. Ebyembi olw’obutaba na bukugu bumala ku bizinensi gye yali ayingiddemu yamulemerera n’agitunda. “Kaali kaseera kazibu gyendi, era nnayita mu kusoomoozebwa ssente zon a ne zinzigwaako,”
Kobusingye bw’agamba.
Yaddamu okutereka ssente asobole okudda mu bizinensi. Era mu 2020, ng’awezezzaawo obukadde 16, yaggulawo ekifo omutundirwa eddagala ekya Lovik Pharmacy e Kisaasi.
Mu kiseera ekyo, eggwanga lyali ku muggalo gwa Covid19.
Agamba nti gwali mukisa kuba mu kitundu, ye yekka eyalimu era ssente yazikola.
Bizinensi yagenda ekula era okutuuka mu 2021, ng’ebalirirwamu obukadde 35.

Akozesa abakozi okuli; atunda eddagala, akwata ssente, ayonja n’omubalirizi w’ebitabo. Ne mu ddwaaliro lya KCCA yasigala akolayo.

Mu 2022, yafuna ekirowoozo ky’okutandikawo eddwaaliro okumpi w’atundira eddagala era mu kiseera kino erina abakozi 7 abalina obuyigirize obulungi.
OBUWANGUZI BWE
1. Kobusingye, obuwanguzi bwe abwesigamya ku ky’okubeera nnyo omusabi. Nga tannaba kukola kusalawo ku kintu kyonna ne bw’aba alina ekimusoomooza, asooka kusaba Katonda amuluh− hamye.
2. Agamba nti bizinensi ze aziddukanyiza ku mateeka era afuba okulaba nga buli kisaanyizo ekyetaagisa akirina.
3. Abakozi ne bakasitoma abakwata n’obwegendereza, yeewala okuduumula emiwendo ate atunda ebintu ebiri ku mutindo ekimuyamba kubanga bakasitoma be beeyongera buli kiseera.
4. Ali mu bibiina by’okweterekera era ssente ze bakung’aanya buli mwezi kuliko mmemba gwe bawa okwekulaakulanya.

OKUSOOMOOZEBWA
Kobusingye agamba nti;
l Layisinsi za bbeeyi, okuyimirizaawo bizinensi kwa bbeeyi n’emisolo mingi ebimunyigiriza mu bizinensi.
l N’obuzibu bw’obutabeera na kapito amala kubanga kin imuviirako okusuubula eddagala ku bbanja ate ekimussa ku puleesa naddala ng’okutunda kutono. Oluusi, n’abakozi abamu si beesigwa, bakukusa eddagala ne balitwala ekimufiiriza.
ENSOBI ZE YEJJUSA
Agamba yakola ensobi ku ntandikwa n’assaamu ssente nnyingi  ng’alowooza agenda kukola nnyo.
Awabula abantu okusooka okutandika n’ekitono n’akula mpolampola. Mu kusoma obusawo mwe yaggya ekirooto ekitandika bizinensi

BY’AFUNYEEMU
Kobusingye agamba nti wadde ebisoomooza bibaddewo naye alina bye yeenyumirizaamu.
l Atonzeewo emirimu kuba bizinensi zombi zikolamu abakozi era abasasula omusaala.
l Yazimbira nnyina ennyumba okuva mu ssente z’ateraka n’amagoba g’akola mu kutunda eddagala.
l Yagulayo n’ettaka. Alina ekirooto ky’okuzimba eddwaaliro eddene ku ttaka lye yagula
mu myaka 10 egijja mu maaso.Awabudde bye weetaaga okutandika bizinensi y’okutunda eddagala (Pharmacy) Olina kubeera n’obuyigirize n’obwagazi bw’okujjanjaba abantu.
Kapito awa bukadde 20, atandika n’okufaayo ku kifo w’ogenda okussa Kobusingye mu  duuka ly’eddaggala. bizinensi nakyo kikulu.ne bw’aba alina ekimusoomooza,
asooka kusaba Katonda amuluh− hamye.
2. Agamba nti bizinensi ze aziddukanyiza ku mateeka era afuba okulaba nga buli kisaanyizo ekyetaagisa airina.
3. Abakozi ne bakasitoma abakwata n’obwegendereza, yeewala okuduumula emiwendo ate atunda ebintu ebiri ku mutindo ekimuyamba kubanga bakasitoma be beeyongera buli kiseera.
4. Ali mu bibiina by’okweterekera era ssente ze bakung’aanya buli mwezi kuliko mmemba gwe bawa okwekulaakulanya.
OKUSOOMOOZEBWA
Kobusingye agamba nti;
l Layisinsi za bbeeyi, okuyimirizaawo bizinensi kwa bbeeyi n’emisolo mingi ebimunyigiriza mu bizinensi. l N’obuzibu bw’obutabeera na kapito amala kubanga kino kimuviirako okusuubula eddagala u bbanja ate ekimussa ku puleesa naddala ng’okutunda kutono. Oluusi, n’abakozi abamu si beesigwa, bakukusa eddagala ne balitwala ekimufiiriza. 

ENSOBI ZE YEJJUSA Agamba yakola ensobi ku ntandikwa n’assaamu ssente nnyingi
ng’alowooza agenda kukola nnyo. Awabula abantu okusooka okutandika n’ekitono n’akula mpolampola