Amawulire

"Uganda yeetaaga okuddamu okutunula mu tteeka erirung’amya ku kuyamba abantu abatakyasobola kukola

Okunoonyereza kulaze nti okuvujjirira ensimbi mu kulabirira abantu abatakyasobola kutumbula amaka, ebyalo ssaako eggwanga okutwaliza awamu.

"Uganda yeetaaga okuddamu okutunula mu tteeka erirung’amya ku kuyamba abantu abatakyasobola kukola
By: Joseph Kizza, Journalists @New Vision

“Twetaaga okuddamu okutunula mu tteeka erirung’amya ku kuyamba abantu abatakyasobola kukola nga eggwanga Uganda”

Okunoonyereza kulaze nti okuvujjirira ensimbi mu kulabirira abantu abatakyasobola kutumbula amaka, ebyalo ssaako eggwanga okutwaliza awamu.

Abantu Nga Batambula Mu Kibuga Kampala Wakati.

Abantu Nga Batambula Mu Kibuga Kampala Wakati.

Jane (linnya ppaatiike), alina omwana omu era afuluma akazigo ke okugenda okukola waddenga tamanyi lunaku bwe lugenda kutambula, okwefaanaanyirizaako n’obukadde bw’abantu abalala abalinga ye, abatalina mirimu mitongole mwe baggya nsimbi.

Ono yandibadde mu ssomero ku myaka 17 gy’aliko, mu disitulikiti y’ewaabwe mu Amuru, mu mambuka ga Uganda kyokka ebyembi tasoma.

Okufa kwa nnyina eyali nnamwandu mu 2019 kwamuggya mu ssomero ng’abuzaayo ebibiina bibiri byokka amaleko eky’omusanvu.

Oluvannyuma lw’okufiirwa nnyina nga tamanyi na kiddako, yeesanga mu kibuga Kampala gye yagenda okusisinkana nnyina omuto naye atunda bogoya ku mabbali g’ekkubo mu Kampala.

Maama we omuto yamuyambako okutegeera engeri ekibuga gye kitambula era oluvannyuma lw’emyaka ebiri, Jane yatandika obulamu obubwe ku kyalo Kiteetikka, ekisangibwa e Gayaza mu Wakiso.

Paul Onapa (ku Ddyo) Ng'annyonnyola.

Paul Onapa (ku Ddyo) Ng'annyonnyola.

Naye ebyembi nga binajja, Jane yafuna olubuto ku myaka 14 gyokka era okusinziira ku ye, omusajja eyalumutikka yali mufumbo ate nga amusingira ddala obukulu.

Kagwensonyi ono bwe yakitegeera nti afunyisizza Jane olubuto, yamusuulawo mu kazigo mwe baali bapangisa nga kati mw’abeera n’omwana ow’emyaka ebiri.

Jane aweeka omwana ono ku mugongo buli lunaku n’agenda ku kaduuka okutunda bucakalacakala obutonotono asobole okufuna ekigulira magala eddiba, abeezeewo obulamu n’omwana we.

 “Sirina kyakukola, ndi nzekka ate siyinza kuwanika. Katonda agabirira”, Jane bwe yantegeezezza ng’eno bw’agezaako okusirisa omwana we eyabadde akaaba.

Ekitebe Kya Nssf Mu Uganda, awamu ku waterekebwa ssente eziyamba ku bannayuganda abatakyasobola kukola nga bannyuse emirimu gyabwe.

Ekitebe Kya Nssf Mu Uganda, awamu ku waterekebwa ssente eziyamba ku bannayuganda abatakyasobola kukola nga bannyuse emirimu gyabwe.

‘Abagwa mu ttuluba ly’abo abatasobola kukola/abatalina mirimu mitongole.

Okusinziira ku myaka Jane gy’alina, engeri gy’ayogeramu n’embeera embi mw’ali biraga obulamu abaana abalala abali mu myaka gye bwe babeeramu. Naye bano bagya mu tteeka ly’eggwanga erifa ku kuyamba abantu abatakyasobola kukola?

Abaana, abavubuka, abakyala, abalina obulemu ku mibiri gyabwe n’abakadde be bam uku bantu abagwa mu ttuluba lino nga n’olwensonga eyo beetaaga okukwasizaako.

Eky’okulabirako kiri ku bakadde (mu myaka 80 n’okwambuka) abafuna omusaala gwa 25,000/= mu nkola ya Social Assistance Grants for Empowerment (SAGE) ezigabibwa buli mwaka.

Pulogulaamu eno etuuka ku bantu 307,000 okusinziira ku minisitule y’ekikula ky’abantu. Uganda yateekawo etteeka ery’okuyamba ku bantu bano mu 2015 okumala emyaka etaano okubayambako okutambuza obulamu n’okubalabirira era baalitongoza mu 2024.

Enjega Ng'eno Yavaako Abantu Bangi Okufiirwa Obulimu Mwe Baali Baggya Eky'okulya.

Enjega Ng'eno Yavaako Abantu Bangi Okufiirwa Obulimu Mwe Baali Baggya Eky'okulya.

Naye etteeka lino n’ebirikwatako bikola ekimala?

"Kituufu tulina amateeka gano naye enkola yaago n’engeri obulamu gye butambuzibwamu kye kikyabulamu”, Paul Onapa, amyuka akulira pulogulaamu y’okugaziya enteekateeka eno ku minisitule y’ekikula ky’abantu bwe yategeezezza.

Ono yabadde mu lukung’aana olwategekeddwa mu Kampala okukubaganya ebirowoozo ku mbeera y’etteeka ly’okulabirira abatasobola kukola n’abatakyalina mirimu mu Uganda, ku Lwokutaano oluwedde nga February 21 mu Kampala.

“Okuyingiramu kwaffe kulina kuleetawo bukuumi nti embeera yonna etuuka ku bulamu, osobola okuyambibwa. Naye kino tetukirabawo,”. Bw’atyo bwe yaongeddeko bwe yabadde ayogera mu lukung’aana olwategekeddwa aba International Centre for Research on Women (ICRW).

Onapa (ku Ddyo) Ng'annyonnyola.

Onapa (ku Ddyo) Ng'annyonnyola.

Onapa yategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa Gavumenti  okulabirira abantu baayo. Noolwekyo kigikakatako okuvujjirira enkola ey’okulabirira abatalina.

Yayongeddeko nti Gavumenti mu kiseera kino esaasaanya ebitundu 0.7 ku 100 eby’ennyingiza y’eggwanga ku kulabirira abantu bano.

“Gye buvuddeko kati tulaba nga waliwo ebisoomooza ebigenda mu maaso mu nsi yonna oluvannyuma lw’okusalibwako obuyambi, ekivuddeko abantu okufiirwa emirimu gyabwe ne basigala nga tebalina kye bakola.

Abantu bafiiriddwa emirimu gyabwe era kati bagwa mu ttuluba ly’abo abasaana okukwatizaako n’okuyambibwa.”Onapa bwe yayongeddeko.

 Omwaka oguwedde gavumenti yafulumya alipoota ku mbeera y’etteeka lino mu Uganda ne bwe liyimiridde ekyalaga wa eggwanga bwe liyimiridde ku mbeera eno.

Okunoonyereza gulaze nga obwavu bukendedde ebitundu 11 ku 100 mu nkola ya SAGE kyokka n’asaba ensimbi ezigabibwa eri abakadde zongerweko okuva ku 25,000/=  ze bafuna buli mwezi.

Kyokka bw’ogeraageranya mu bitundu bya Afirika, tukyali mabega nnyo ng’eggwanga ku bannaffe abalala, Onapa bwe yayongeddeko.

Dr. Fred K Muhumuza (wakati) Ng'ayogera.

Dr. Fred K Muhumuza (wakati) Ng'ayogera.

‘Enkola eno muginyweze’
“Awatali ssente, muba mumala biseera,” Dr Fred K. Muhumuza, omusomesa w’essomo lya economics ku Makerere University Business School bwe yagambye.

Yategeezezza nti okuwa ssente Bannayuganda bamufunampola abakola ebitundu 34 ku 100 kiyinza okuba si kye kyandisaanye okukolebwa wabula enkola eno yeetaaga okunywezebwa n’okunnyikizibwa mu bantu.

Yagambye nti gavumenti ebawe ssente zino naye esooke ekakase nti ate tebazisaasaanyiza ku bintu by’esobola okukolako. 

Amateeka gakola ekimala?  
Ate ye munnamateeka mu kkooti ya Uganda enkulu ku nsonga zino, Moses Ssegawa yagambye nti okusoomoozebwa kw’alaba kwe kuba nga tulemeddwa okunokolayo ani eyeetaaga okuyambibwa n’ani ateetaaga buyambi.

Yagambye nti ekizibu ky’abaana abawala abafuna embuto nga tebanneettuuka  kiraga nti  baana,abakola ekitundu ekinene ddala ku muwendo gw’abantu abali mu Uganda.

Buli mukyala yenna azaala asaanye afune okuwummula ng’etteeka ku by’emirimu bwe liragira naye ono omuwala afunye olubuto nga tanneetuuka ye ateekwa kubeera mu ssomero.

Moses Ssegawa Ng'annyonnyola

Moses Ssegawa Ng'annyonnyola

Kati ekibuuzo kiri nti, kuno okuwummula akafuna? Kino tekisoboka kubanga omwana oyo aba tannafuna mulimu kumuwa mwagaanya kuwummula.

 Etteeka lino yagambye nti likola kw’abo bokka abakola, abafuna akasiimo ka gavumenti , abatereka ne NSSF n’abali mu kkowe eryo. “Lifa ku bantu baamuswaba nnyo,” Ssegawa, omukugu mu nsonga z’ebyemirimu bwe yategeezezza.

Yasabye batunule mu tteeka lino bakole ennongoosereza okusinziira ku ngeri eggwanga gye litambuzibwamu n’ekika ky’emirimu abantu gye bakola.

Bizinensi ezitawangaala
Abantu abasinga abeekozesa n’abalina bizinensi ezaabwe abasukka mu bukadde 2 n’ekitundu bagwa wa mu tteeka lino?

Uganda eyinza okuba y’emu ku nsi ezisinga okubaamu bizinensi kyokka bizinensi akakadde kamu n’emitwalo 10 ku zino teziwangaala, okusinziira ku bibalo bya minisitule y’ebyensimbi.

Grace ng'akkaatiriza.

Grace ng'akkaatiriza.

Kino nno nakyo kitaataaganya engeri etteeka lino gye likolamu. Bizinensi ezisinga tezisukka myaka 10 era ebitundu 10 ku 100 byokka bye biwangala. Bizinensi 50 ku 100 tezisussa myaka 5.” Grace Nshemeire Gwaku, Chief operating officer owa Private Sector Foundation Uganda (PSFU), bwe yagambye.

Nshemeire yakinogaanyizza nti abakozi abasinga mu Uganda tebalina bbaluwa kwe babaweera mirimu ekibateeka mu katyabaga k’okugifiirwa nga tewali yadde tteeka kwe beesigama kubaliyirira.

Kati okukola ku kino, yagambye nti etteeka lino litunuulire okuleeta ekiragiro ekisaba buli mukozi okubeera n’ebbaluwa emuwa omulimu gy’akolera.

Ebibalo kikulu nnyo

Ebitongole by’obwannakyewa ebikiikirirwa mu ttabamiruka wa  ICRW bikola omulimu Munene nnyo mu kubunyisa enjiri y’okuyambako ku batasobola kwekolerera.

Ebitongole bino ebiwera 3,200 omwaka oguwedde byalina abakozi abasoba mu 1,557 okusinziira ku mukago ogubitaba ogwa NGO.

Munduru Ng'ayogera.

Munduru Ng'ayogera.

Bino ebisinga obungi bituusa ku bantu empeereza ebayambako mu bulamu obwabulijjo n’abatasobola kwekolerera, Mercy Grace Munduru, akulira eby’okusonda ensimbi ku Action Aid International, Uganda bwe yagambye.

Emu ku mpeereza eyo y’eyokutangira okutulugunyizibwa mu baami n’abakyala okusinziira ku kikula kyabwe.

Gye buvuddeko obuyambi obuva ebweru w’eggwanga bwe bwasalwako, ebisulo ebibiri omwali mubeera abantu abatulugunyizibwa olw’ekikula okuli eky’e Bwaise ne Mubende ng’era byali biyambako ne ku balwadde ba mukenenya byaggalawo. “

“Okunoonyereza kutuwa ebibalo ebyetaagisa okulaba obwetaavu bw’etteeka lino era ne kutuwa butya bwe liyimiridde mu ggwanga. Nga tetulina bibalo, tetusobola kubanja tteeka lino’, bw’atyo Munduru bwe yayongeddeko.

Omubaka omukyala ow’e Kyegegwa, Flavia Kabahenda Rwabuhoro ku nsonga eno yagambye nti etteeka ly’okuyamba ku batakyasobola kukola teritegeeza bwavu wabula obutaba na mwasirizi yadde obusobozi.

Omubaka Kabahenda Ng'atangaaza.

Omubaka Kabahenda Ng'atangaaza.

“Omulamwa gw’obutabaako muntu yenna asigalira mabega ye mpagi enkulu eyeesigamwako ebiruubirwa ebimanyiddwa nga Sustainable Development Goals (SDGs), ekitgeeza nti amaanyi gonna agateekebwa mu kino galina kusoosowaza kutuuka ku bantu be kikwatako abatalina yadde busobozi aba wansi ennyo.

Kabahenda, ng’ono era y’akulira akakiiko ka Palamenti akafa ku by’okuteekerateekera abantu abatakyasobola kukola aka Uganda Parliamentary Forum on Social Protection (UPFSP) yategeezezza nti waliwo omulimu munene nnyo ogwolekedde okukolebwa.

Yagambye nti weetaagisaawo okunoonyereza okw’amaanyi n’okuteekawo enjawulo wakati w’obwavu n’obutaba na mwasirizi.

Dr. Evelyn Opondo Ng'awumbawumba

Dr. Evelyn Opondo Ng'awumbawumba

Ku tteeka lino era yagambye nti gavumenti yeetaaga okutegekera abantu baayo abakaddiye mu myaka. Yasonze ne ku njega eyagwa e Kiteezi, Buduuda ne Kaseese n’agamba nti waali weetaagisa etteeka lino okukola amangu.

Okunoonyereza okwakolebwa aba Uganda Functional Difficulties Survey (UFDS)  mu 2017 kulaga nti ebitundu 12.4 ku 100 (abantu nga obukadde 6) ku Bannayuganda baliko obulemu ku mibiri gyabwe.

Abamu Ku Bantu Abatalina Mwasirizi Bafuna Obuzibu Mu Kufuna Emirimu

Abamu Ku Bantu Abatalina Mwasirizi Bafuna Obuzibu Mu Kufuna Emirimu

Kigambibwa nti amaka agalimu abantu nga bano gasaasaanya ebitundu 39 ku 100 okusinga kw’ago mwe batali. Okunoonyereza kuno era kulaga nti abantu abaliko obulemu tebafuna mukisa gufuna mirimu mirungi.

Mu nkiiko za Palamenti nga bakubaganya ebirowoozo ku tteeka lya NSSF, abantu abaliko obulemu baategeeza nti eky’okulinda okusooka okuweza emyaka 45 balyoke baggyeyo ssente zaabwe kyali kifuuse kizibu .

Abamu Ku Baabaddeyo Mu Ttabamiruka Ono mu kifaanany

Abamu Ku Baabaddeyo Mu Ttabamiruka Ono mu kifaanany

Baawa eky’okulabirako ne bagamba nti ssinga omuntu aliko obulemu afiirwa omulimu gwe ku myaka 30, kimubeerera kizibu okufuna omulala kubanga basosolwa.

Kabahenda yagambye nti ne ssente z’emyoga eza PDM nazo tezikola kimala ku tteeka lino era n’abantu abakola ebitundu 39 ku 100 abamanyiddwa nti baavu tebafuna ssente zino kuba tebalina bisaanyizo byetaagisa nga n’amaka agamu ku gano gakulirwa baana bato.

Omubaka Kabahenda yagambye nti gye bujja mu maaso, Uganda egenda kuva ku by’okulabirira abakadde edde ku kuzimba amaka agalabirira bantu abatakyasobola kukola na kwerabirira.

Akulira ekibiina kya, ICRW Africa, Evelyne Opondo bwe yabadde awunzika yasiimye buli muntu eyeetabye mu lukung'aana luno olwabaddemu emboozi ezikubaganya ebirowooza ku tteeka ery'okuyamba abatakyasobola kukola (social protection)

Opondo yakinogaanyizza era nti bajja kutunula mw’ebyo ebyogeddwa bafune olukalala lwabyo, lwe baneeyambisa era okukola okunoonyereza okusingako ku tteeka lino.

(Bivvuunuddwa Grace Namatovu)

Tags:
Amawulire
ICRW
Social Protection
NSSF
Uganda
Ddembe
tteeka
Ssente
Kukuumibwa
NGO
AID
USAID