Uganda etandise okwetegekera empaka z'abavubuka ezigenda okubeera mu Angola.
Uganda ekakasizza okwetaba mu mpaka z'abavubuka eza Africa ez'omulundi ogw'okuna.
Empaka zino ezabali wansi wemyaka 17 eziyitibwa Africa youth games zaakubawo ku nkomerero yomwaka guno mu kibuga Luanda ekya angola.
Enteekateeka z'empaka zino zaatandise nalukungaana lwabakulira ebibinja byensi ez'enjawulo olwetabiddwamu abakungu okuva mu mawanga ga afrida 54 okutema empenda ku ngeri ezomwaka guno gyezigenda okutegekebwamu.

Harriet Ayaa eyakiikiridde uganda mu lukungaana oluteekateeka empaka mu Angola
Agenda okukulemberamu ekibinja kya Uganda Harriet Ayaa era nga yakulira ekibiina kyomuzannyo gwa Gymnastics mu Uganda yeyakiikiridde Uganda nga ono yakakasizza nga Uganda bwegenda okwetaba mu mizannyo ena okuli ensero eya 3x3 mu bakyala, tennis wokumeeza, okuwuga nemisinde.
Mu mizannyo gyabavubuka egyasembayo mu 2018 uganda yawangula emidaali etaano okwali egya feeza esatu negyekikomo eiri.
Emizannyo gyomwaka guno gyakubeera mu bibuga bisatu okuli Luanda, Benguela ne Bengo nga abavubuka abasoba mu 2500 nga zaakukozesebwa nga ezokusunsula abaneetaba mu mpaka za Olympics owabavubuka ezigenda okubeera mu kibuga darker ekya Senegal omwaka ogujja.